-
1 Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja, ne bamukema ne bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu.
2 Naye n'addamu n'abagamba nti Bwe buba akawungeezi, mugamba nti Bunaaba bulungi: kubanga eggulu limyuse.
3 N'enkya nti Wanaaba omuyaga leero: kubanga eggulu limyuse libindabinda. Mumanyi okwawula eggulu bwe lifaanana; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?
4 Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona. N'abaleka, n'agenda.
5 Abayigirizwa ne bajja emitala w'eri, ne beerabira okutwala emigaati.
6 Yesu n'abagamba nti Mutunuulire mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
7 Ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Kubanga tetuleese migaati.
8 Yesu n'amanya n'agamba nti Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka kubanga temulina migaati?
9 Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano eri abo enkumi ettaano, n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya
10 Era emigaati omusanvu eri abo enkumi ennya, n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya?
11 Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambiridde lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
12 Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
13 Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti Omwana w'omuntu abantu bamuyita batya?
14 Ne bagamba nti Abalala bamuyita Yokaana Omubatiza; abalala nti Eriya: abalala nti Yeremiya, oba omu ku bannabbi.
15 N'abagamba nti Naye mmwe mumpita mutya?
16 Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.
17 Yesu n'addamu n'amugamba nti Olina omukisa, Simooni Ba-Yona: kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
18 Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza.
19 Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululibwa mu ggulu.
20 Awo n'akuutira abayigirizwa baleme okubuulirako omuntu nti ye Kristo.
21 Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa.
22 Peetero n'amutwala, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n'akatono.
23 N'akyuka, n'agamba Peetero nti Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.
24 Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Omuntu bw'ayagala okujja ennyuma wange, yeefiirize yekka yeetikke omusalaba gwe, angoberere.
25 Kubanga buli ayagaIa okulokola obulamu bwe alibubuza: na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.
26 Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?
27 Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola.
28 Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.