-
1 Yesu n'afuluma mu yeekaalu; yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga yeekaalu:
2 Naye n'addamu n'abagamba nti Temulaba bino byonna? mazima mbagamba nti Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja eritalisuulibwa wansi.
3 Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti Tubuulire bino we biribeererawo n'akabonero ak'okujja kwo bwe kaliba, n'ak'emirembe gino okuggwaawo?
4 Yesu n'addamu n'abagamba nti Mulabe omuntu yenna tabakyamyanga.
5 Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti Nze Kristo; balikyamya bangi.
6 Muliwulira entalo n'ettutumu ly'entalo: mulabe temweraliikiriranga: kubanga tebirirema kubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.
7 Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka: walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu.
8 Naye ebyo byonna lwe lubereberye lw'okulumwa.
9 Lwe balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.
10 Mu biro ebyo bangi abalyesittala, baliwaŋŋanayo, balikyawagana.
11 Ne bannabbi bangi ab'obulimba balijja, balikyamya bangi.
12 Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw'abasinga obungi kuliwola.
13 Naye agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.
14 N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka ejja.
15 Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza, Danyeri nnabbi kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, (asomamu ategeere),
16 kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi:
17 ali waggulu ku nju takkanga kuggyamu bintu ebiri mu nju ye:
18 ali mu lusuku taddanga nate kutwala kyambalo kye.
19 Naye ziribasanga abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo!
20 Nammwe musabe ekidduko kyammwe kireme okuba mu biro eby'empewo, newakubadde ku ssabbiiti:
21 kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.
22 Ennaku ezo singa tezaasalibwako, tewandirokose buli alina omubiri: naye olw'abalonde ennaku ezo zirisalibwako.
23 Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano, oba nti Wano; temukkirizanga.
24 Kubanga walijja bakristo ab'obulimba, ne bannabbi ab'obulimba, n'abo balikola obubonero obukulu n'eby'amagero; n'okukyamya bakyamye n'abalonde, oba nga kiyinzika.
25 Laba, mbalabudde.
26 Kale bwe babagambanga nti Laba, ali mu ddungu; temufulumanga: laba, ali mu bisenge munda; temukkirizanga.
27 Kubanga ng'okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.
28 Awaba omulambo wonna, awo ensega we zikuŋŋaanira.
29 Naye amangu ago, oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erifuuka ekizikiza, n'omwezi tegulyolesa musana gwagwo, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa:
30 awo lwe kalirabika akabonero ak'Omwana w'omuntu mu ggulu: n'ebika byonna eby'ensi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'omuntu ng'ajja ku bire eby'eggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene.
31 Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'eggulu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo.
32 Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi;
33 bwe mutyo nammwe, bwe mulaba ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ku luggi.
34 Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo, okutuusa ebyo byonna lwe birikolebwa.
35 Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala.
36 Naye eby'olunaku luli n'ekiseera tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab'omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.
37 Naye ng'ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.
38 Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka amataba nga balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,
39 ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabatwala bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.
40 Mu biro ebyo abasajja babiri baliba mu kyalo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa:
41 abakazi babiri baliba nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
42 Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw'ajjirako.
43 Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa yamanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.
44 Mukale nammwe mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w'omuntu ky'ajjiramu.
45 Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi, mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo?
46 Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw'alisanga ng'azze ngakola bw'atyo.
47 Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.
48 Naye omuddu oyo omubi bw'aligamba mu mutima gwe nti Mukama wange aludde;
49 era bw'alisooka okukuba baddu banne, n'okulya n'okunywera awamu n'abatamiivu;
50 mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atalindiririramu, ne mu kiseera ky'atamanyi,
51 alimutemamu ebitundu bibiri, alimuwa omugabo gwe wamu ne bannanfuusi: mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.