-
1 Kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu alina ennyumba ye, eyakeera enkya okupakasa abalimi balime mu lusuku lwe olw'emizabbibu.
2 Bwe yamala okulagaana n'abalimi eddinaali ey'olunaku olumu, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu.
3 N'afuluma essaawa nga ziri ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde mu katale nga tebaliiko kye bakola;
4 nabo n'abagamba nti Nammwe mugende mu lusuku olw'emizabbibu, nange nnaabaweera ekinaatuuka. Ne bagenda.
5 N'afuluma nate essaawa nga ziri mukaaga, era n'omwenda, n'akola bw'atyo.
6 N'afuluma essaawa nga ziri kkumi n'emu, n'asanga abalala nga bayimiridde; n'abagamba nti Kiki ekibayimiriza wano obudde okuziba nga temuliiko kye mukola?
7 Ne bamugamba nti Kubanga tewali muntu eyatupakasizza. N'abagamba nti Nammwe mugende mu lusuku olw'emizabbibu.
8 Obudde bwe bwawungeera, omwami w'olusuku olw'emizabbibu n'agamba omukoza we nti Bayite abalimi, obawe empeera, osookere ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye.
9 N'ab'omu ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.
10 N'abo abaasooka bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okukirawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.
11 Bwe baagiweebwa, ne beemulugunyiza omwami.
12 nga bagamba nti Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu, n'obenkanya naffe, abaateganye enkya n'essana nga litwokya.
13 Naye n'addamu n'agamba omu ku abo nti Munnange, sikukoze bubi: tewalagaanye nange eddinaali emu?
14 Twala eyiyo, ogende; njagala okuwa ono ow'oluvannyuma nga ggwe.
15 Siyinza kukola byange nga bwe njagala? oba eriiso lyo bbi kubanga nze ndi mulungi?
16 Bwe batyo ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma.
17 Yesu bwe yali ng'ayambuka okugenda e Yerusaalemi, n'atwala abayigirizwa ekkumi n'ababiri kyama, n'abagambira mu kkubo nti
18 Laba, twambuka tugenda e Yerusaalemi; n'Omwana w'omuntu aliweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; nabo balimusalira omusango okumutta,
19 era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukuba, n'okumukomerera: n'alyoka azuukizibwa ku lunaku olw'okusatu.
20 Awo nnyina w'abaana ba Zebbedaayo n'ajja gy'ali, n'abaana be, n'amusinza, n'amusaba ekigambo.
21 N'amugamba nti Oyagala ki? N'amugamba nti Lagira abaana bange bano bombi batuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu bwakabaka bwo.
22 Naye Yesu n'addamu n'agamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako? Ne bamugamba nti Tuyinza.
23 N'abagamba nti Ku kikompe kyange mulinywerako ddala: naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula eri abo Kitange be yakuterekera.
24 Na bali ekkumi bwe baawulira, ne banyiigira ab'oluganda ababiri.
25 Naye Yesu n'abayita gy'ali, n'agamba nti Mumanyi ng'abaami b'amawanga babafuga, n'abakulu baabwe babatwala n'amaanyi.
26 Tekiibenga bwe kityo mu mmwe: naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe:
27 na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe:
28 nga Omwana w'omuntu bw'atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky'abangi.
29 Bwe baali nga bafuluma mu Yeriko, ekibiina ekinene ne kimugoberera.
30 Laba, abazibe b'amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, bwe baawulira nti Yesu ayitawo, ne boogerera waggulu; nga bagamba nti Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi.
31 Ekibiina ne kibaboggolera, okusirika: naye bo ne beeyongera okwogerera waggulu, nga bagamba nti Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi.
32 Yesu n'ayimirira, n'abayita, n'agamba nti Mwagala mbakole ki?
33 Ne bamugamba nti Mukama waffe, amaaso gaffe gazibuke.
34 Yesu n'akwatibwa ekisa, n'akoma ku maaso gaabwe: amangu ago ne balaba, ne bamugoberera.