-
1 Bwe yava ku lusozi, ebibiina bingi ne bimugoberera.
2 Kale, laba, omugenge n'amusemberera n'amusinza, n'agamba nti Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.
3 N'agolola omukono, n'amukwatako, ng'agamba nti Njagala; longooka. Amangu ago ebigenge bye ne birongooka.
4 Yesu n'amugamba nti Laba tobuulirako muntu; naye ddayo weerage eri kabona, omutwalire ekitone Musa kye yalagira, kibeere omujulirwa gye bali.
5 Bwe yayingira mu Kaperunawumu, omwami w'ekitongole Omuruumi n'ajja gy'ali, n'amwegayirira,
6 ng'agamba nti Mukama wange, mulenzi wange agalamidde mu nnyumba akoozimbye, abonaabona kitalo.
7 N'amugamba nti Najja ne mmuwonya.
8 Omwami w'ekitongole Omuruumi n'addamu n'agamba nti Mukama wange, sisaanira ggwe okuyingira wansi w'akasolya kange: naye yogera kigambo bugambo, mulenzi wange anaawona.
9 Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina baserikale be ntwala: bwe ŋŋamba oyo nti Genda, agenda: n'omulala nti Jjangu, ajja; n'omuddu wange nti Kola oti, bw'akola.
10 Naye Yesu bwe yawulira, ne yeewuunya, n'agamba abaayita naye nti Ddala mbagamba nti Sinnalaba kukkiriza kunene nga kuno, newakubadde mu Isiraeri.
11 Nange mbagamba nti Bangi abaliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, abalituula awamu ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, mu bwakabaka obw'omu ggulu:
12 naye abaana b'obwakabaka baligoberwa mu kizikiza eky'ebweru: ye eriba okukaaba n’okuluma obujiji.
13 Yesu n'agamba omwami w'ekitongole Omuruumi nti Kale genda; nga bw'okkirizza, kibeere gy'oli bwe kityo. Omulenzi n'awonera mu kiseera ekyo.
14 Yesu bwe yayingira mu nnyumba ya Peetero, n'alaba nnyina mukazi we ng'agalamidde alwadde omusujja.
15 N'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuwonako; n'agolokoka, n'amuweereza.
16 Obudde bwali buwungedde; ne bamuleetera bangi abakwatiddwa dayimooni: n'agoba dayimooni n'ekigambo n'awonya bonna abaali balwadde:
17 ekigambo kituukirire ekyayogerwa nnabbi Isaaya, ng'agamba nti Ye yennyini yatwala obunafu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe.
18 Awo Yesu bwe yalaba ebibiina bingi nga bimwetoolodde, n'alagira nti Tuwunguke tugende emitala w'eri.
19 Omuwandiisi omu n'ajja; n'amugamba nti Omuyigiriza, nnaayitanga naawe buli gy'onoogendanga yonna.
20 Yesu n'amugamba nti Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu; naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.
21 Omuyigirizwa we omulala n'amugamba nti Mukama wange, sooka ondeke ŋŋende nziike kitange.
22 Naye Yesu n'amugamba nti Yita nange; leka abafu baziike abafu baabwe.
23 N'asaabala, abayigirizwa ne bagenda naye.
24 Omuyaga mungi ne gujja mu nnyanja, amayengo ne gayiika mu lyato: naye yali yeebase.
25 Ne bajja gy'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti, Mukama waffe, tulokole; tufa.
26 N'abagamba nti Kiki ekibatiisa, abalina okukkiriza okutono? N'alyoka agolokoka, n'akoma ku mpewo n'ennyanja; n'eteeka nnyo.
27 Abantu ne beewuunya, nga bagamba nti Muntu ki ono, empewo n'ennyanja okumuwulira?
28 Naye bwe yatuuka emitala w'eri mu nsi y'Abagadaleni, ne bamusisinkana abantu babiri abaaliko dayimooni, nga bava mu ntaana, bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza okuyita mu kkubo eryo.
29 Laba, ne boogerera waggulu ne bagamba nti otuvunaana ki, Omwana wa Katonda? ozze wano kutubonyaabonya ng'entuuko zaffe tezinnaba kutuuka?
30 Waaliwo walako ne we baali ekisibo ky'embizzi nnyingi nga zirya.
31 Dayimooni ne gimwegayirira ne gigamba nti Bw'onootugoba, tusindike mu kisibo ky'embizzi.
32 N'agigamba nti Mugende. Ne gibavaako, ne gigenda mu mbizzi : kale, laba, ekisibo kyonna ne kifubutuka ne kiserengetera ku bbangabanga mu nnyanja, ne zifiira mu mazzi.
33 N'abaali bazirunda ne badduka, ne bagenda mu kibuga, ne bababuulira byonna n'ebigambo by'ababaddeko dayimooni.
34 Laba, ekyalo kyonna ne kijja okusisinkana Yesu: bwe baamulaba, ne bamwegayirira okuva mu nsalo zaabwe.