Chapter 11
1 Era Yefusa Omugireyaadi yali musajja wa maanyi muzira, era yali mwana w'omwenzi: Gireyaadi ye yazaala Yefusa.
2 Omukazi ow'e Gireyaadi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; abaana ba mukazi we bwe baakula, ne bagoba Yefusa; ne bamugamba nti Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw'oli mwana wa mukazi mulala.
3 Awo Yefusa n'alyoka adduka baganda be, n’abeera mu nsi ye Tobu: abasajja abataliiko kye bagasa ne bakuŋŋaana eri Yefusa, ne batabaalanga naye.
4 Awo olwatuuka ekiseera bwe kyayitawo abaana ba Amoni ne balwana ne Isiraeri.
5 Awo olwatuuka abaana ba Amoni bwe baalwana ne Isiraeri, abakadde ab'e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa okumuggya mu nsi ye, Tobu:
6 ne bagamba Yefusa nti Jjangu obeere omukulu waffe, tulwane n'abaana ba Amoni.
7 ne bagamba Yefusa nti Jjangu obeere omukulu waffe, tulwane n'abaana ba Amoni.
8 Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti Kyetuvudde tukukyukira nate kaakano ogende naffe olwane n'abaana ba Amoni, naawe oliba mukulu waffe afuga bonna abatuula mu Gireyaadi.
9 Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti Bwe mulinkomyawo ewaffe okulwana n'abaana ba Amoni Mukama n'abagabula mu maaso gange, ndiba mukulu wammwe?
10 Abakadde We Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti Mukama ye anaabanga omujulirwa wakati waffe; mazima n'ekigambo kyo bwe kiriba bwe tulikola bwe tutyo.
11 Awo Yefusa n'alyoka agenda n'abakadde ab'e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulu waabwe abafuga: Yefusa n'ayogera ebigambo bye byonna mu maaso ga Mukama mu Mizupa.
12 Awo Yefusa n'atuma ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni ng'ayogera nti Gw'olina ki nange, ekikuleese gye ndi okulwanyisa ensi yange?
13 Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti Kubanga Isiraeri yanziyako ensi yange bwe yayambuka okuva mu Misiri, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani: kale kaakano zizze ensi ezo lwa mirembe.
14 Yefusa n'atuma nate ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni.
15 n'abagamba nti Yefusa bw'ayogera bw'atyo nti Isiraeri teyanyaga nsi ya Mowaabu, newakubadde ensi y'abaana ba Amoni:
16 naye bwe baayambuka okuva mu Misiri, Isiraeri bwe yali ayita mu ddungu okutuuka ku Nnyanja Emmyufu, n'atuuka e Kadesi;
17 Isiraeri n'alyoka atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti Nkwegayirira, ka mpite mu nsi yo: naye kabaka wa Edomu n'atawulira: Era n'atumira bw'atyo kabaka wa Mowaabu: naye n'atayagala: Isiraeri n'atuula mu Kadesi.
18 Awo n'alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala wa Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu:
19 Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abamoli, kabaka w’e Kesuboni; Isiraeri n'amugamba nti Tukwegayirira; ka tuyitemu nsi yo ŋŋende mu kifo kyange.
20 Naye Sikoni n'ateesiga Isiraeri kuyita mu nsalo ye; naye Sikoni n'akuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira mu Yakazi, n'alwana ne Isiraeri:
21 Mukama Katonda wa Isiraeri; n'agabula Sikoni n'abantu be bonna mu mukono gwa Isiraeri; ne babatta: Isiraeri n'alyoka alya ensi yonna ey'Abamoli, be baatuula mu nsi eyo.
22 Ne balya ensalo yonna ey'Abamoli, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki, era okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani.
23 Kale kaakano Mukama Katonda wa Isiraeri, yagobamu Abamoli mu maaso g'abantu be Isiraeri, naawe wandibalidde?
24 Tolirya nsi katonda wo Kemosi gy'akuwa okulya? Naffe bwe tutyo bonna Mukama Katonda waffe be yagobamu mu maaso gaffe, eyo gye tulirya.
25 Ne kaakano gw'osinga Balaki mutabani wa ZipoIi, kabaka wa Mowaabu, n'akatono? yali awakanyeeko ne Isiraeri; oba yali alwaayeeko nabo?
26 Isiraeri bwe yali atuula mu Kesuboni n'ebyalo byakyo, ne mu Aloweri n'ebyalo byakyo, ne mu bibuga byonna ebiri ku mabbali ga Alunoni, emyaka ebikumi bisatu; ekyabalobera ki okubiddamu okubirya mu kiseera ekyo?
27 Kale nze sikwonoonanga, naye ggwe onsobezza okulwana nange: Mukama, Omulamuzi, alamule leero wakati w'abaana ba Isiraeri n'abaana ba Amoni.
28 Naye kabaka w'abaana ba Amoni n'atawulira bigambo bya Yefusa bye yamutumira.
29 Awo omwoyo gwa Mukama ne gulyoka gujja ku Yefusa, n'ayita mu Gireyaadi ne Manase, n'ayita mu Mizupe eky'omu Gireyaadi, n'ava e Mizupe eky'omu Gireyaadi n'ayita n'agenda eri abaana ba Amoni.
30 Yefusa ne yeeyama eri Mukama obweyamo n'agamba nti Oba ng'oligabulira ddala abaana ba Amoni mu mukono gwange;
31 awo olulituuka, ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z'ennyumba yange okunsisinkana, bwe ndikomawo emirembe okuva eri abaana ba Amoni, kiriba kya Mukama, nange ndikiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa:
32 Awo Yefusa n'ayita n'agenda eri abaana ba Amoni okulwana nabo; Mukama n'abagabula mu mukono gwe.
33 N'abakuba okuva ku Aloweri okutuusa ng'ojja e Minnisi, bye bibuga abiri, n'okutuuka ku Aberukeramimu, n'abatta bangi nnyo: Abaana ba Amoni bwe baajeemulwa bwe batyo mu maaso g'abaana ba Isiraeri:
34 Yefusa n'ajja e Mizupa eri ennyumba ye, era, laba, muwala we n'afuluma okumusisinkana ng'alina ebitaasa era nga bazina: era ye yali omwana we omu; teyalina wa bulenzi newakubadde ow'obuwala wabula ye.
35 Awo olwatuuka bwe yamulaba n'ayuzaayuza engoye ze n'ayogera nti Zinsanze, muwala wange! onnakuwazizza nnyo, naawe oli ku muwendo gw'abo abanneeraliikiriza: kubanga nayasama akamwa kange eri Mukama, so siyinza kuddirira.
36 N'amugamba nti Kitange, wayasama akamwa ko eri Mukama; nkola ng'ekigambo bwe kyali ekyava mu kamwa ko; kubanga Mukama yakuwalanyizza eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.
37 N'agamba kitaawe nti Ekigambo kino kinkolwe: ndekera emyezi ebiri, ŋŋende nserengetere ku nsozi, nkaabire obutamanya bwange musajja, nze ne bannange.
38 N'agamba nti Genda: N'amusiibula amale emyezi ebiri: n'agenda, ye ne banne, n'akaabira obutamanya bwe musajja ne bumukaabisiza eyo ku nsozi.
39 Awo olwatuuka emyezi ebiri bwe gyaggwaako, n'akomawo eri kitaawe, n'amukola ng'obweyamo bwe bwe bwali bwe yeeyama: era yali tannamanya musajja.
40 Ne wabangawo empisa mu Isiraeri, abawala ba Isiraeri okugendanga buli mwaka okujjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi ennaku nnya buli mwaka.