Ekyabalamuzi

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21


Chapter 3

1 Gano ge mawanga Mukama ge yaleka okukema Isiraeri olw'abo, bonna ku bo abataamanya ntalo zonna eza Kanani;
2 kyokka emirembe gy'abaana ba Isiraeri bamanye, okubayigiriza okulwana, bo abaali tebamanyiiko n'akatono olubereberye;
3 abakungu abataano ab'Abafirisuuti, n'Abakanani bonna, n'Abasidoni, n'Abakiivi abaatuulanga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuusa awayingirirwa mu Kamasi.
4 Era baali ba kukema Isiraeri, okumanya oba nga bagenda okuwulira ebiragiro bya Mukama bye yalagira bajjajjaabwe ku bwa Musa.
5 Abaana ba Isiraeri ne batuula mu Bakanani; Omukiiti, n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi:
6 ne bawasa abawala baabwe okuba abakazi baabwe, ne bawa abawala baabwe bo eri batabani baabwe, ne baweereza bakatonda baabwe.
7 Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe; ne baweerezanga Babaali ne Baasera.
8 Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatunda mu mukono gwa Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya: abaana ba Isiraeri ne baweerereza Kusanurisasaimu emyaka munaana,
9 Awo abaana ba Isiraeri bwe bakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi abaana ba Isiraeri, eyabalokola, ye Osunieri mutabani wa Kenazi, ye mwanawaabo owa Kalebu.
10 Omwoyo gwa Mukama ne gumujjira, n'alamula Isiraeri; n'agenda okutabaala, Mukama n'agabula Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya mu mukono gwe: omukono gwe ne guwangula Kusanurisasaimu.
11 Ensi n'ewummulira emyaka ana. Osunieri mutabani wa Kenazi n'afa:
12 Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi: Mukama n'awa Eguloni kabaka wa Moabu amaanyi okulwana ne Isiraeri, kubanga baali bakoze ekyali mu maaso ga Mukama ekibi.
13 Ne yeekuŋŋaanyiza abaana ba Amoni ne Amaleki; n'agenda n'akuba Isiraeri, ne balya ekibuga eky'enkindu.
14 Abaana ba Isiraeri ne baweerereza Eguloni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana.
15 Naye abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi, Ekudi mutabani wa Gera, Omubenyamini, eyali owa kkono: abaana ba Isiraeri ne bamukwasa ekirabo akitwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu.
16 Ekudi ne yeeweeseza ekitala eky'obwogi obubiri, obuwanvu bwakyo omukono gumu; n'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze.
17 N'awa Eguloni kabaka wa Mowaabu ekirabo: Eguloni yali musajja munene nnyo.
18 Awo bwe yamala okuwa ekirabo; n'asindika abantu abaali beetisse ekirabo.
19 Naye ye kennyini n'addayo ng'akoma ku mayinja agaali okumpi w'e Girugaali, n'ayogera nti Ntumiddwa ebigambo eby'ekyama eri ggwe, kabaka. N'ayogera nti Musirike. Bonna abaali bayimiridde naye ne bafuluma ne bamuleka.
20 Ekudi n'ajja gy'ali; yali atudde omu yekka mu nju ye eya waggulu ey'okuwolawolerangamu. Ekudi n'ayogera nti Nnina ebigambo ebiva eri Katonda gy'oli. N'ayimuka ku ntebe ye.
21 Ekudi n'agolola omukono gwe ogwa kkono, n'aggya ekitala ku kisambi ekya ddyo, n'amufumita olubuto:
22 n'ekiti nakyo ne kibuliramu; amasavu ne gazibikira ekitala we kiyingiridde, kubanga teyasowola kitala mu lubuto lwe, ne kiviiramu nnyuma.
23 Awo Ekudi n'afuluma n'agenda mu kisasi, n'amuggalirawo enzigi z'enju eya waggulu, n'azisiba.
24 Awo bwe yamala okufuluma, abaddu be ne bajja; ne balaba, era, laba, enzigi z'enju eya waggulu nga zisibiddwa; ne boogera nti Aliŋŋanga abisse ku bigere bye mu nju ye ey'okuwolawolerangamu.
25 Ne balindirira okutuusa ensonyi lwe zaabakwata: era, laba, nga taggulawo nzigi za nju eya waggulu; awo ne baddira ekisumuluzo, ne baziggulawo: era, laba, mukama waabwe ng'agudde wansi afudde.
26 Ekudi n'awona nga bakyalindirira, n'ayita ku mayinja, n'awona n'atuuka e Seyiri.
27 Awo olwatuuka, bwe yatuuka, n'afuuwa ekkondeere mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, abaana ba Isiraeri ne baserengetera wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi, naye ng'abakulembera.
28 N'abagamba nti Mungoberere: kubanga Mukama agabudde abalabe bammwe Abamowaabu mu mukono gwammwe. Ne bamugoberera ne baserengeta, ne beekwata emisomoko gya Yoludaani nga balwana n'Abamowaabu, ne bataganya muntu kusomoka.
29 Ne batta ku Mowaabu mu biro ebyo abasajja nga kakumi, buli muntu ow'amaanyi na buli muntu muzira; so tekwawonako muntu.
30 Awo Mowaabu n'ajeemulwa ku lunaku olwo n'omukono gwa Isiraeri: Ensi n'ewummulira emyaka kinaana.
31 Samugali mutabani wa Anasi n'addirira oyo, n'atta ku Bafirisuuti abasajja lukaaga n'omuwunda ogusoya ente: era naye n'alokola Isiraeri.