Chapter 18
1 Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: ne mu nnaku ezo ekika ky'Abadaani beenoonyeza obusika obw'okutuulamu; kubanga okutuusa ku lunaku olwo obusika bwabwe baali nga tebannabuweebwa mu bika bya Isiraeri.
2 Awo abaana ba Ddaani ne batuma ab'omu kika kyabwe abasajja bataano ku muwendo gwabwe gwonna, abasajja abazira, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, okuketta ensi n'okugikebera; ne babagamba nti Mugende mukebere ensi: ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, eri ennyumba ya Mikka, ne basula omwo.
3 Bwe baali bali eyo mu nnyumba ya Mikka, ne bategeera eddoboozi ly'omuvubuka Omuleevi: ne bakyama okugenda eyo, ne bamugamba nti Ani eyakuleeta wano? era okola ki mu kifo kino? era kiki ky'olina wano?
4 N'abagamba nti Bw'atyo ne bw'atyo Mikka bwe yankola, n’ampeera, nange ne nfuuka kabona we.
5 Ne bamugamba nti Tukwegayirira, buuza Katonda atulagule, tumanye oba ng'olugendo lwaffe lwe tugenda luliba n'omukisa.
6 Kabona n'abagamba nti Mugende mirembe: olugendo lwammwe lwe mugenda luli mu maaso ga Mukama.
7 Awo abasajja abo abataano ne balyoka beegendera, ne batuuka e Layisi, ne balaba abantu abali omwo, nga batuula mirembe, ng'engeri ey'Abasidoni bw'eri, nga basirise nga balina emirembe; kubanga tewaali muntu mu nsi nannyini buyinza eyandiyinzizza okubaswaza mu kigambo kyonna, era baabali wala Abasidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna.
8 Ne batuuka eri baganda baabwe e Zola ne Esutaoli: baganda baabwe ne babagamba nti Mwogera mutya?
9 Ne boogera nti Mugolokoke twambuke okulwana nabo: kubanga tumaze okulaba ensi, era, laba, nnungi nnyo: nammwe musirise? temugayaala kugenda n'okuyingira okulya ensi.
10 Bwe muligenda, mulisanga abantu abatamanyiridde, era ensi ngazi: kubanga Katonda agibawadde mu mukono gwammwe; ekifo ekitabulwamu kintu ekiri mu nsi.
11 Ne wavaayo okugenda ab'omu kika ky'Abadaani, abaava mu Zola ne mu Esutaoli, abasajja lukaaga abeesiba ebyokulwanyisa.
12 Ne bambuka, ne basiisira mu Kiriyasuyalimu mu Yuda: kyebava bayita ekifo ekyo Makanedani okutuusa leero: laba, kiri nnyuma w'e Kiriyasuyalimu.
13 Ne bavaayo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ne bajja ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.
14 Awo abasajja bataano abaagenda okuketta ensi ey'e Layisi ne baddamu ne bagamba baganda baabwe nti Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekyole, n'ekifaananyi ekisaanuuse? kale nno mulowooze ekibagwanira okukola.
15 Ne bakyamira eyo, ne bajja ne batuuka ku nnyumba y'omuvubuka Omuleevi, ye nnyumba ya Mikka, ne bamubuuza bw'ali.
16 N'abasajja bali olukumi abeesiba ebyokulwanyisa ab'oku baana ba Ddaani baali bayimiridde ku mulyango gwa wankaaki.
17 N'abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ne bambuka ne bayingira omwo, ne batwala ekifaananyi ekyole, n'ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekisaanuuse: ne kabona yali ayimiridde ku mulyango gwa wankaaki wamu n'abasajja bali olukaaga abeesiba ebyokulwanyisa.
18 Awo abo bwe baayingira mu nnyumba ya Mikka ne baggyamu ekifaananyi ekyole n'ekkanzu ne baterafi n'ekifaananyi ekisaanuuse, kabona n'abagamba nti Mukola ki?
19 Ne bamugamba nti Sirika, engalo zo oziteeke ku kamwa ko ogende naffe, obeere gye tuli kitaffe era kabona: kisinga obulungi ggwe okubeera kabona eri ennyumba y'omuntu omu, oba okuba kabona eri ekika n'ennyumba mu Isiraeri?
20 Omutima gwa kabona ne gusanyuka, n'atwala ekkanzu ne baterafi n'ekifaananyi ekyole, n'agenda wakati mu bantu.
21 Awo ne bakyuka ne beegendera; ne bakulembeza abaana abato n'ensolo n'ebintu.
22 Bwe baali balese ennyuma walako ennyumba ya Mikka, abasajja abaali mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana, ne batuuka ku baana ba Ddaani.
23 Ne bakoowoola abaana ba Ddaani. Ne bakyusa amaaso gaabwe ne bagamba Mikka nti Obadde otya okujja n'ekibiina ekyenkanidde wano?
24 N'ayogera nti Munziyeeko bakatonda bange be nnakola ne kabona ne mwegendera, nange nnina ki nate? kale mumbuuza mutya nti Obadde otya?
25 Abaana ba Ddaani ne bamugamba nti Eddoboozi lyo lireme okuwulirwa mu ffe, abasajja ab'obusungu baleme okubagwako, naawe n'ofa n'ab'omu nnyumba yo.
26 Abaana ba Ddaani ne beetambulira: awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye.
27 Ne batwala ebyo Mikka bye yali akoze; ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi, eri abantu abaali basirise abatamanyiridde, ne babatta n'obwogi bw'ekitala; ekibuga ne bakyokya omuliro.
28 So tewaabaawo mulokozi, kubanga kyali wala We Sidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna: era kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu. Ne bazimba ekibuga ne batuula omwo.
29 Ne batuuma ekibuga erinnya lyakyo Ddaani, ng'erinnya lya Ddaani jjajjaabwe bwe lyali eyazaalirwa Isiraeri: naye erinnya ly'ekibuga lyali Layisi olubereberye.
30 Awo abaana ba Ddaani ne beesimbira ekifaananyi kiri ekyole: ne Yonasaani, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye ne batabani be be baali bakabona eri ekika ky'Abadaani okutuusa ku lunaku ensi lwe yanyagirwako.
31 Awo ne beesimbira ekifaananyi kya Mikka ekyole kye yakola, ennaku zonna ennyumba ya Katonda ng'ekyali mu Siiro.