Chapter 16
1 Samusooni n'agenda e Gaza, n'alabayo omukazi omwenzi, n'ayingira gy'ali.
2 (Ne babuulira) ab'e Gaza nti Samusooni atuuse wano: Ne bamuzingiza, ne bamuteegera mu mulyango gw'ekibuga okukeesa obudde, ne basirika ekiro kyonna, nga boogera nti Obudde bukye tulyoke tumutte.
3 Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n'agolokoka mu ttumbi, n'akwata enzigi z'omuzigo gw'ekibuga, n'emifuubeeto gyombi, n'abisimbulira ddala byonna era n'ekisiba, n’abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso g'e Kebbulooni.
4 Awo olwatuuka oluvannyuma n'ayagala omukazi mu kiwonvu Soleki, erinnya lye Derira.
5 Abakungu b'Abafirisuuti ne bayambuka gy'ali, ne bamugamba nti Musendeseade olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, era kwe tulisinziira okumusobola, tumusibe tumujeeze: naffe tulikuwa buli muntu ku ffe ebitundu ebya ffeeza lukumi mu kikumi.
6 Derira n'agamba Samusooni nti Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era ekiyinza okukusiba okukujeeza.
7 Samusooni n'amugamba nti Bwe balinsibya enkolokolo embisi omusanvu ezitakaze, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala.
8 Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bamuleetera enkolokolo embisi omusanvu ezitakaze, n'amusibya ezo.
9 Era omukazi yalina abateezi abaabeera mu nju ey'omunda: N'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'akutula enkolokolo, ng'omugwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gutuuse ku muliro: Awo amaanyi ge ne gatategeereka:
10 Derira n'agamba Samusooni nti Laba, onduulidde, era onnimbye: kaakano nkwegayiridde, mbuulira ekiyinza okukusiba.
11 N'amugamba nti Bwe balinsibya obusibya emigwa emiggya egitakozesebwanga ku mirimu, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala.
12 Awo Derira n'addira emigwa emiggya, n'amusibya egyo, n'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. Era abateezi baali bali mu nju ey'omunda. N'agikutula ku mikono gye ng'ewuzi.
13 Derira n'agamba Samusooni nti Okutuusa kaakano onduulira era onnimba bulimbi: mbuulira ekiyinza okukusiba. N'amugamba nti Bw'onooluka emivumbo egy'oku mutwe gwange omusanvu n'engoye ezirukibwa.
14 N'azisibira ddala n'olubambo n'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'azukuuka mu tulo twe, n'akwakula olubambo lw'omuti ogulukirwako, n'engoye ezirukibwa.
15 N'amugamba nti Oyinza otya okwogera nti Nkwagala, omutima gwo nga teguli mange? waakanduulira emirundi gino esatu, so tonnambuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.
16 Awo olwatuuka bwe yamutayiriranga buli lunaku n'ebigambo bye n'amwegayiriranga, obulamu bwe ne bwagala okufa ennaku.
17 N'amubuulira byonna (ebyali mu) mutima gwe, n'amugamba nti Akamwano tekayitanga ku mutwe gwange; kubanga ndi Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange: bwe ndiba nga mmwereddwa, amaanyi gange ne galyoka ganvaako, ne nfuuka nmunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.
18 Derira bwe yalaba ng'amubuulidde byonna (ebibadde mu) mutima gwe, n'atuma n'ayita abakungu b'Abafirisuuti ng'ayogera nti Mwambuke omulundi guno gwokka, kubanga ambuulidde byonna (ebibadde mu) mutima gwe. Awo abakungu b'Abafirisuuti ne balyoka bayambuka gy'ali nga baleeta effeeza mu ngalo zaabwe.
19 N'amwebasa ku maviivi ge; n'ayita omusajja, n'amwa emivumbo egy'oku mutwe gwe omusanvu; n'atanula okumujeeza, amaanyi ge ne gamuvaako.
20 N'ayogera nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'azuukuka mu tulo twe n'ayogera nti Naafuluma ng'obw'edda, ne nneekunkumula. Naye yali tamanyi nga Mukama amulese.
21 Awo Abafirisuuti ne bamukwata, ne baggyamu amaaso ge; ne bamuserengesa e Gaza, ne bamusibya enjegere z'ebikomo: n'aseeranga mu nnyumba ey'ekkomera.
22 Naye enviiri ez'oku mutwe gwe ne zitanula okumera bwe yamala okumwebwa.
23 Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka ennene eri Dagoni katonda waabwe n'okusanyuka: kubanga baayogera nti Katonda waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe:
24 Awo abantu bwe baamulaba ne batendereza katonda waabwe: kubanga baayogera nti Katonda waffe agabudde omulabe waffe mu mukono gwaffe, era omuzikiriza w'ensi y'ewaffe, eyatuttako abangi.
25 Awo olwatuuka emitima gyabwe bwe gyali gisanyuse, ne boogera nti Muyite Samusooni atunyumizeeko. Ne bayita Samusooni okumuggya mu nnyumba ey'ekkomera: n'abanyumizaako (ng'ali) mu maaso gaabwe: ne bamuteeka wakati w'empagi:
26 Samusooni n'agamba omulenzi eyali amukutte ku mukono nti Ndeka okuwammanta empagi eziwanirira enju, nzeesigameko.
27 Era enju yali ejjudde abasajja n’abakazi; era abakungu b'Abafirisuuti baali bali awo bonna; ne waggulu ku nju kwaliko abasajja n'abakazi nga nkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ng'abanyumizaako.
28 Awo Samusooni n'akaabira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda, njijukira, nkwegayirira, ompe amaanyi, nkwegayirira, omulundi guno gwokka, ai Katonda, mpalane eggwanga mangu ago ku Bafirisuuti olw'amaaso gange gombi.
29 Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati ezaawanirira enju, n'azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku emu, n'ogwa kkono nga guli ku ndala:
30 Samusooni n'ayogera nti Nfiire wamu n'Abafirisuuti. N'akutama n'amaanyi ge gonna; enju n'egwa ku bakungu ne ku bantu bonna abaali omwo. Bwe batyo abaafa be yattira mu kufa kwe baali bangi okusinga be yatta nga mulamu.
31 Awo baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe ne baserengeta ne bamutwala, ne bamwambusa, ne bamuziika wakati w’e Zola ne Esutaoli mu kifo eky'okuziikangamu ekya Manowa kitaawe. Era yalamulira Isiraeri emyaka abiri.