Chapter 1
1 Awo Yoswa bwe yamala okufa, abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama nti Ani alisooka okulinnya eri Abakanani, okubalwanyisa?
2 Mukama n'ayogera nti Yuda ye alirinnya: laba, ngabudde ensi mu mukono gwe.
3 Yuda n'agamba Simyoni muganda we nti Ogende nange mu mugabo gwange, tulwanyise Abakanani; era nange bwe ntyo ndigenda naawe mu mugabo gwo. Awo Simyoni n'agenda naye.
4 Yuda n'alinnya; Mukama n'agabula Abakanani n'Abaperizi mu mukono gwabwe: ne babattiramu mu Bezeki`abasajja kakumi.
5 Ne basanga Adonibezeki mu Bezeki: ne bamulwanyisa, ne batta Abakanani n'Abaperizi.
6 Naye Adonibezeki n'adduka; ne bamugoberera, ne bamukwata; ne bamusalako engalo ze ensajja n'ebigere bye ebisajja.
7 Edonibezeki n'ayogera nti Bakabaka ensanvu, abaasalibwako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja, baakuŋŋaanyizanga (emmere yaabwe) wansi w'emmeeza yange: nga nze bwe nnaakola, ne Katonda bw'ampalanye bw'atyo. Ne bamuleeta e Yerusaalemi, n'afiira eyo.
8 Abaana ba Yuda ne balwanyisa Yerusaalemi, ne bakimenya, ne bakitta n'ekitala, ne bookya ekibuga omuliro.
9 Awo bwe baamala, abaana ba Yuda ne baserengeta okulwanyisa Abakanani abaatuula mu nsi ey'ensozi, ne mu bukiika obwa ddyo, ne mu nsi ey'olusenyi.
10 Ne Yuda ne balumba Abakanani abaatuula mu Kebbulooni: (naye erinnya 1ya Kebbulooni nga ye Kiriasualuba edda:) ne batta Sesayi, ne Akimaani; ne Talumaayi.
11 N'avaayo, n'alumba abaatuula mu Debiri. (N'erinnya lya Debiri nga ye Kiriasuseferi edda.)
12 Kalebu n'ayogera nti Oyo alitta Kiriasuseferi n'akimenya, ndimuwa Akusa muwala wange okumuwasa.
13 Osunieri, omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu omuto, n'akimenya: n'amuwa Akusa muwala we okumuwasa.
14 Awo bwe yajja (gy'ali), n'asabisa kitaawe ennimiro: n'ava ku ndogoyi ye; Kalebu n'amugamba nti Oyagala ki?
15 N'amugamba nti Mpa omukisa; kubanga wanteeka mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, era, mpa n'enzizi ez'amazzi: Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
16 N'abaana ab'Omukeeni, mukoddomi wa Musa, ne balinnya nga bava mu kibuga eky'enkindu awamu n'abaana ba Yuda ne bagenda mu lukoola lwa Yuda, oluli ku bukiika obwa ddyo obwa Aladi; ne bagenda ne batuula n'abantu.
17 Ne Yuda n'agenda ne Simyoni muganda we, ne bakuba Abakanani abaatuula mu Zefasi, ne bakizikiririza ddala. N'erinnya ly'ebibuga lyayitibwa Koluma.
18 Era Yuda n'amenya Ggaza n'ensalo yaakyo, ne Asukuloni n'ensalo yaakyo, ne Ekuloni n'ensalo yaakyo.
19 Era Mukama yali wamu ne Yuda; n'agoba (abaatuula) mu nsi ey'ensozi; kubanga teyayinza kugoba abaatuula mu kiwonvu, kubanga baali balina amagaali ag'ekyuma.
20 Ne bawa Kalebu Kebbulooni, nga Musa bwe yayogera: n'agobera omwo abaana abasatu aba Anaki.
21 N'abaana ba Benyamini ne batagoba Bayebusi abaatuula mu Yerusaalemi: naye Abayebusi ne batuula n'abaana ba Benyamini mu Yerusaalemi, ne leero.
22 N'ennyumba ya Yusufu, era nabo ne balinnya ne balumba Beseri. Mukama n'aba wamu nabo.
23 N'ennyumba ya Yusufu ne batuma okuketta Beseri. (Erinnya ly'ekibuga edda lyali Luzi.)
24 N'abakessi ne balaba omusajja ng'ava mu kibuga, ne bamugamba nti Tulage, tukwegayiridde, we tunaayingirira mu kibuga, naffe tunaakukola bulungi.
25 N'abalaga we banaayingirira mu kibuga, ne batta ekibuga n'ekitala; naye ne bata omusajja oyo n'ennyumba ye yonna.
26 Omusajja oyo n'agenda mu nsi ey'Abakiiti, n'azimba ekibuga, n'akituuma erinnya lyakyo Luzi: lye linnya lyakyo ne leero.
27 Manase n'atagoba (abaatuula) mu Besuseani n'ebyalo byakyo, ne mu Taanaki n'ebyalo byakyo, newakubadde abaatuula mu Doli n'ebyalo byakyo, newakubadde abaatuula mu Ibuleamu n'ebyalo byakyo, newakubadde abaatuula mu Megiddo n'ebyalo byakyo: naye Abakanani ne baagala okutuula mu nsi eyo:
28 Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yafuna amaanyi, ne bakoza Abakanani emirimu, ne batabagobera ddala.
29 Efulayimu n'atagoba Bakanani abaatuula mu Gezeri; naye Abakanani ne batuula mu Gezeri wakati mu bo:
30 Zebbulooni n'atagoba abaatuula mu Kituloni, newakubadde abaatuula mu Nakaloli; naye Abakanani ne batuula mu bo; ne bafuuka ab'okuwanga omusolo.
31 Aseri n'atagoba abaatuula mu Akko, newakubadde abaatuula mu Sidoni; newakubadde mu Alabu, newakubadde mu Akuzibu; newakubadde mu Keruba, newakubadde mu Affiki newakubadde mu Lekobu:
32 naye Abaseri ne batuula mu Bakanani, be baatuula mu nsi: kubanga tebaabagoba.
33 Nafutaali n'atagoba abaatuula mu Besusemesi, newakubadde abaatuula mu Besuanasi; naye n'atuula mu Bakanani, be baatuula mu nsi: era naye abaatuula mu Besusemesi ne mu Besuanasi ne bafuuka ab'okuwanga omusolo.
34 Abamoli ne bagobera abaana ba Ddaani mu nsi ey'ensozi: kubanga tebaabaganya kuserengeta mu kiwonvu:
35 naye Abamoli baayagala okutuula ku lusozi Keresi, mu Ayalooni, ne mu Saalubimu: naye omukono gw'ennyumba ya Yusufu ne gusinga, n'okufuuka ne bafuuka ab'okuwanga omusolo
36 N'ensalo ey'Abamoli yava awayambukirwa Akulabbimu, okuva ku lwazi, n'e ngulu.