Chapter 4
1 Abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, Ekudi bwe yamala okufa.
2 Mukama n'abatunda mu mukono gwa Yabini kabaka wa Kanani, eyafugira mu Kazoli; omugabe w'eggye lye Sisera, eyatuula mu Kalosesi eky'ab'amawanga.
3 Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama: kubanga yali alina amagaali ag'ekyuma lwenda; n'ajoogera nnyo abaana ba Isiraeri emyaka abiri.
4 Era Debola, nnabbi, omukazi wa Lappidosi, ye yalamulanga Isiraeri mu biro ebyo.
5 Era yatuulanga wansi w'olukindu lwa Debola wakati w'e Laama n'e Beseri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi: abaana ba Isiraeri ne bambukanga gy'ali okubasaliranga emisango.
6 N'atuma n'ayita Balaki, mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesunafutaali, n'amugamba nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, talagidde nti Genda mukuŋŋaanire eri olusozi Taboli, otwale naawe abasajja kakumi ku baana ba Nafutaali ne ku baana ba Zebbulooni?
7 Nange ndiwalulira gy'oli eri omugga Kisoni Sisera omugabe w'eggye lya Yabini, n'amagaali ge n'ekibiina kye; nange ndimugabula mu mukono gwo.
8 Balaki n'amugamba nti Ggwe bw'oligenda nange, kale ndigenda: naye bw'otoligenda nange ggwe, sirigenda.
9 N'agamba nti Mazima ndigenda naawe: naye olugendo lw'ogenda teruliba lwa kitiibwa kyo; kubanga Mukama alitunda Sisera mu mukono gw'omukazi: Debola n'agolokoka n'agenda ne Balaki e Kedesi.
10 Balaki n'ayita Zebbulooni ne Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi; ne bayambukayo abasajja kakumi nga balinnya mu bigere bye: Debola n'ayambukira wamu naye.
11 Era Keberi Omukeeni yali ayawukanye n'Abakeeni, be baana ba Kobabu mukoddomi wa Musa, n'azimba eweema ye awali omwera mu Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi.
12 Ne babuulira Sisera nga Balaki mutabani wa Abinoamu alinnye ku lusozi Taboli.
13 Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna, amagaali ag'ekyuma lwenda, n'abantu bonna abaali naye, okuva ku Kalosesi eky'ab'amawanga okutuusa ku mugga Kisoni.
14 Debola n'agamba Balaki nti Golokoka; kubanga leero Mukama lw'agabudde Sisera mu mukono gwo: Mukama takukulembedde okutabaala? Awo Balaki n'ava ku lusozi Taboli, abasajja kakumi ne bamugoberera.
15 Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna n'eggye lye lyonna n'obwogi bw'ekitala mu maaso ga Balaki; Sisera n'ava mu ggaali lye, n'adduka n'ebigere.
16 Naye Balaki n'agoberera amagaali n'eggye okutuuka e Kalosesi eky'ab'amawanga: n'eggye lya Sisera lyonna obwogi bw'ekitala ne bulimalawo, tewaasigala muntu.
17 Naye Sisera n'adduka n'ebigere n'atuuka mu weema ya Yayeeri mukazi wa Keberi Omukeeni: kubanga Yabini kabaka we Kazoli n'ennyumba ya Keberi Omukeeni baali balina emirembe:
18 Yayeeri n'afuluma okusisinkana Sisera, n'amugamba nti Kyama, mukama wange, oyingire ewange, totya. N'akyama n'ayingira ewuwe mu weema n'amubikkako ekikunta.
19 N'amugamba nti Nkwegayiridde, mpa otuzzi nnywe, kubanga ennyonta ennuma. N'asumulula eddiba ery'amata, n'amunywesa, n’amubikkako.
20 N'amugamba nti yimirira mu mulyango gw'eweema, awo olunaatuuka, omuntu yenna bw'anajja n'akubuuza n'ayogera nti Omusajja yenna ali muno? naawe onooyogera nti Nedda.
21 Awo Yayeeri mukazi wa Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n’ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa.
22 Era, laba, Balaki ng'agoberera Sisera, Yayeeri n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti jjangu, nange n'akulaga omusajja gw'onoonya. N'ajja gy'ali; era, laba, Sisera yali agalamidde afudde, n'enkondo ng'eri mu kyenyi kye.
23 Bw'atyo Katonda n'ajeemula ku lunaku olwo Yabini kabaka wa Kanani mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
24 Omukono gw'abaana ba Isiraeri ne gweyongerayongera okuwangula Yabini kabaka wa Kanani, okutuusa lwe baamala okuzikiriza Yabini kabaka wa Kanani.