Chapter 2
1 Ne malayika wa Mukama n'ava e Girugaali n'ayambuka e Bokimu. N'ayogera nti Nabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe; ne njogera nti Sirireka ndagaano yange (gye nnalagaana) nammwe:
2 nammwe temulagaananga ndagaano n'abo abatuula mu nsi muno; mumenyemenyenga ebyoto byabwe: naye mmwe temuwulidde ddoboozi lyange: kiki ekibakozesa bwe mutyo?
3 Nange kyennava njogera nti Siibagobenga mu maaso gammwe; naye banaabanga ng’amaggwa mu mbiriizi zammwe, ne bakatonda baabwe banaabanga kyambika gye muli.
4 Awo olwatuuka malayika wa Mukama bwe yabuulira ebigambo ebyo abaana ba Isiraeri, abantu ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga.
5 Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu: ne baweera eyo ssaddaaka eri Mukama.
6 Awo Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, abaana ba Isiraeri ne bagenda buli muntu mu busika bwe okulya ensi.
7 Abantu ne baweerezanga Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde, abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna ogwa Mukama omunene gwe yakolera Isiraeri.
8 Yoswa omwana wa Nuni, omuddu wa Mukama n’afa, nga yaakamaze emyaka kikumi mu kkumi.
9 Ne bamuziika mu nsalo y'obusika bwe mu Timunasukeresi, mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi ku bukiika obwa kkono obw'olusozi Gaasi.
10 Era n'ab'emirembe egyo bonna ne bakuŋŋaanyizibwa eri bajjajjaabwe: ne wabaawo emirembe emirala egibaddirira, abataamanya Mukama, newakubadde omulimu gwe yakolera Isiraeri.
11 Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne baweereza Babaali:
12 Mukama ne bamuvaako, Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, ku bakatonda ab'amawanga agabeetooloola, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama.
13 Mukama ne bamuvaako, ne baweereza Baali ne Asutaloosi.
14 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abagabula mu mikono gy'abanyazi abaabanyaga, n'abatunda mu mikono gy'abalabe baabwe okwetooloola, n'okuyinza ne batayinza nate kuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe.
15 Gye baatabaalanga yonna, omukono gwa Mukama ne gubaleeteranga akabi, nga Mukama bwe yayogera; era nga Mukama bwe yabalayirira: ne beeraliikirira nnyo.
16 Mukama n'ayimusa abalamuzi abaabalokolanga mu mukono gwabo abaabanyaganga.
17 Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga baagenda nga bayenda nga bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira: baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; bo tebaakola bwe batyo.
18 Era Mukama bwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi, n’abalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe ennaku zonna ez'omulamuzi: kubanga Mukama ne yejjusa olw'okusinda kwabwe olw'abo abaabajooganga ne babeeraliikiriza.
19 Naye olwatuuka, omulamuzi bwe yamalanga okufa, ne baddanga ennyuma, ne bakola obubi okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe so tebaalekanga kkubo lyabwe kkakanyavu.
20 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri: n'ayogera nti Kubanga: eggwanga lino lisobezza ku ndagaano gye nnalagira bajjajjaabwe, so tebawulidde ddoboozi lyange;
21 nange okusooka leero kyennaavanga nnema okugoba mu maaso gaabwe ku mawanga Yoswa ge yafissaawo bwe yafa:
22 ndyoke nkeme Isiraeri olw'abo oba nga banaakwatanga ekkubo lya Mukama okulitambulirangamu, nga bajjajjaabwe bwe baalikwata, nantiki si weewaawo.
23 Awo Mukama n'aleka amawanga gali, obutabagoba mangu; so teyabagabula mu mukono gwa Yoswa.