Chapter 7
1 Awo Yerubbaali, ye Gidyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi: n'olusiisira lwa Midiyaani lwali ku luuyi lwabwe olw'obuluika obwa kkono, ku mabbali g'olusozi Mole, mu kiwonvu.
2 Mukama n'agamba Gidyoni nti Abantu abali naawe bayinze obungi nze okuwa Abamidiyaani mu mukono gwabwe. Isiraeri aleme okunneenyumiririzaako ng'ayogera nti Omukono gwange nze gwe gundokodde.
3 Ka1e nno kaakano genda olangire mu matu g'abantu nti Buli atya akankana, addeyo ave ku lusozi Gileyaadi. Ne waddayo ku bantu bukumi bubiri mu enkumi bbiri; ne wasigalawo kakumi.
4 Mukama n'agamba Gidyoni nti Abantu bakyayinze obungi; baserengese ku mazzi; nange naabakukemerera eyo: awo olunaatuuka eyo gwe nnaakugamba nti Ono anaagenda naawe, ye anaagenda naawe; era buli gwe nnaakugamba nti Ono taagende naawe, ye ataagende naawe.
5 Awo n'aserengesa abantu ku mazzi: Mukama n'agamba Gidyoni nti Buli anaakomba ku mazzi n'olulimi, ng'embwa bw'ekomba, oyo gw'onooyawulamu; era bw'atyo buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa.
6 N'omuwendo gw'abo abaakomba n'olulimi, nga batadde engalo ku mumwa, baali abasajja ebikumi bisatu: naye abantu abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi.
7 Mukama n'agamba Gidyoni nti Nnaabalokola n'abasajja ebikumi bisatu abaakombye n'olulimi, ne ngabula Abamidiyaani mu mukono gwo: era abantu bonna beddireyo buli muntu mu kifo kye.
8 Awo abantu ne batwala ebyokulya mu ngalo zaabwe, n'amakondeere: n'asindika abasajja bonna aba Isiraeri buli muntu mu weema ye; naye n'abeera n'abasajja abo ebikumi bisatu: n'olusiisira lwa Midiyaani lwali wansi we mu kiwonvu:
9 Awo olwatuuka ekiro ekyo Mukama n'amugamba nti Golokoka, oserengete mu lusiisira; kubanga ndugabudde mu mukono gwo.
10 Naye oba ng'otya okuserengeta; genda ne Pula omuddu wo oserengete mu lusiisira.
11 era onoowulira bye boogera; emikono gyo ne giryoka giba n'amaanyi okuserengeta mu lusiisira: Awo n'aserengeta ne Pula omuddu we ne bayingira mu basajja abaalina ebyokulwanyisa abaali mu lusiisira ku nkomerero yaalwo.
12 N'Abamidiyaani n'Abamaleki n'abaana bonna ab'ebuvanjuba baali bateekeddwateekeddwa mu kiwonvu ng'enzige okuba abangi; n'eŋŋamira zaabwe tezaabalikika, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja okuba ennyingi.
13 Awo Gidyoni bwe yatuuka, laba, nga waliwo omusajja abuulira munne ekirooto n'ayogera nti Laba, naloota ekirooto, era, laba, omugaati ogwa sayiri ne gugwa mu lusiisira lwa Midiyaani, ne guyingira mu weema, ne gugikuba n'egwa, ne gugivuunika, eweema n'egalamira bugalamizi.
14 Munne n'addamu n'ayogera nti Ekyo kitala kya Gidyoni mutabani wa Yowaasi omusajja wa Isiraeri so si kirala mu mukono gw'oyo Katonda mw'agabudde Midiyaani n'eggye lyonna.
15 Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamuwulira ng'abuulira ekirooto n'okutegeeza kwakyo, n'asinza; n'addayo mu lusiisira lwa Isiraeri n'ayogera nti Mugolokoke, kubanga Mukama agabudde mu mukono gwammwe eggye lya Midiyaani.
16 N'ayawulamu abasajja bali ebikumi bisatu n'abafuula ebisinde bisatu, n'abakwasa bonna amakondeere mu ngalo zaabwe, n'ensuwa enkalu, ebitawuliro nga biri mu nsuwa.
17 N'abagamba nti Mulabire ku nze; nammwe mukole bwe mutyo: era, laba, bwe nnaatuuka ku nkomerero y'olusiisira, awo nze nga bwe nnaakola, nammwe munaakola bwe mutyo.
18 Nze bwe nnaafuuwa ekkondeere, nze ne bonna abali nange, nammwe ne mulyoka mufuuwa amakondeere ku njuuyi zonna ez'olusiisiira lwonna, ne mwogera nti Ba Mukama era ba Gidyoni.
19 Awo Gidyoni n'abasajja kikumi abaali naye ne batuuka ku nkomerero y'olusiisira ekisisimuka ekya wakati nga kyekijje kitanule nga kyebajje basseewo abakuumi ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa, ezaali mu ngalo zaabwe.
20 Ebibiina ebisatu ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa nga bakutte ebitawuliro n'emikono gyabwe egya kkono, n'amakondeere n'emikono gyabwe egya ddyo bafuuwe: ne boogerera waggulu nti Ekitala kya Mukama era kya Gidyoni.
21 Ne bayimirira buli muntu mu kifo kye nga beetooloola olusiisira: eggye lyonna ne lidduka; ne boogerera waggulu, ne babaddusa.
22 Ne bafuuwa amakondeere ebikumi bisatu, Mukama n'alwanyisa buli muntu ekitala kye okufumita munne era n'eggye lyonna: eggye ne lidduka okutuuka ku Besusitta mu kkubo 1y'e Zerera, okutuuka ku nsalo ya Aberumekola ku mabbali g'e Tabbasi.
23 Abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaanyizibwa okuva mu Nafutaali ne mu Aseri ne mu Manase yonna, ne bagoberera Midiyaani,
24 Gidyoni n'atuma ababaka okubuna ensi yonna eya Efulayimu ey'ensozi nga boogera nti Mujje muserengete ku Midiyaani, mubasooke okwekwata amazzi okutuuka ku Besubala, ye Yoludaani: Awo abasajja bonna aba Efulayimu ne bakuŋŋaanyizibwa, ne beekwata amazzi okutuuka ku Besubala, ye Yoludaani.
25 Ne bakwata abalangira ba Midiyaani bombi, Olebu ne Zeebu; ne battira Olebu ku jjinja lya Olebu, ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero lya Zeebu, ne bagoberera Midiyaani: ne baleetera Gidyoni emitwe gya Olebu ne Zeebu emitala wa Yoludaani.