Chapter 10
1 Awo oluvannyuma lwa Abimereki ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, mutabani wa Dodo, omusajja wa Isakaali, okulokola Isiraeri; n'abeera mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi.
2 N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu esatu, n'afa, ne bamuziika mu Samiri.
3 Oluvannyuma lw'oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi; n'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu ebiri.
4 Era yalina batabani be asatu, abeebagalanga abaana b'endogoyi asatu, nabo baalina ebibuga asatu, bye bayita Kavosuyayiri okutuusa leero, ebiri mu nsi ya Gireyaadi.
5 Yayiri n'afa ne bamuziika mu Kamoni.
6 Abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne baweereza Babaali, ne Asutaloosi ne bakatonda ab'e Busuuli, ne bakatonda ab'e Sidoni, ne bakatonda ba Mowaabu, ne bakatonda ab'abaana ba Amoni, ne bakatonda ab'Abafirisuuti; Mukama ne bamuvaako ne batamuweereza.
7 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatunda mu mukono gw'Abafirisuuti, ne mu mukono gw'abaana ba Amoni.
8 Ne beeraliikiriza ne bajooga abaana ba Isiraeri omwaka ogwo: (baajoogera) emyaka kkumi na munaana abaana ba Isiraeri bonna abaali emitala wa Yoludaani mu nsi y'Abamoli eri mu Gireyaadi.
9 Abaana ba Amoni ne basomoka Yoludaani okulwanyisa ne Yuda ne Benyamini n'ennyumba ya Efulayimu; n'okweraliikirira Isiraeri ne yeeraliikirira nnyo.
10 Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama nga boogera nti Twakusobya kubanga twava ku Katonda waffe; ne tuweereza Babaali.
11 Mukama n'agamba abaana ba Isiraeri nti Saabalokola eri Abamisiri n'eri Abamoli, eri abaana ba Amoni n'eri Abafirisuuti?
12 Era ne Basidoni n'Abamaleki n'Abamawoni baabajooga; ne munkaabira ne mbalokola mu mukono gwabwe.
13 Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala: kyenva nnema okugenda okubalokola nate.
14 Mugende mukaabire bakatonda be mwalonda; bo babalokolenga mu biro eby'okunakuwala kwammwe.
15 Abaana ba Isiraeri ne bagamba Mukama nti Twayonoona: tukole kyonna ky'onoolaba nga kirungi: kyokka tuwonye leero, tukwegayiridde.
16 Ne baggya mu bo bakatonda abaggya ne baweereza Mukama: omwoyo gwe ne gumuluma olw'ennaku za Isiraeri.
17 Awo abaana ba Amoni ne balyoka bakuŋŋaana ne basiisira mu Gireyaadi. Abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu Mizupa.
18 Abantu, abakulu ab'e Gireyaadi, ne bagambagana nti Omusajja aluwa alisooka okulwanyisa abaana ba Amoni? oyo ye aliba omukulu w'abo bonna abatuula mu Gireyaadi.