Essuula 14
1 Ne ndaba, era, laba, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ku lusozi Sayuuni, era wamu naye akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, nga balina erinnya lye n'erinnya lya Kitaawe nga liwandiikiddwa ku byenyi byabwe.
2 Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okunene: n'eddoboozi lye nnawulira ng'ery'abakubi b'ennanga nga bakuba ennanga zaabwe:
3 ne bayimba ng'oluyimba oluggya mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'ebiramu ebina n'abakadde; so tewali muntu eyayinza okuyiga oluyimba olwo wabula akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaagulibwa mu nsi.
4 Abo be bateeyonoona eri abakazi; kubanga tebamanyanga mukazi. Abo be bagoberera Omwana gw'endiga buli gy'agenda. Abo baagulibwa mu bantu okuba ebibala eby'olubereberye eri Katonda n'eri Omwana gw'endiga.
5 Era mu kamwa kaabwe temwalabika bulimba: tebaliiko bulema.
6 Ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu,
7 ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo z'amazzi.
8 Ne malayika omulala ow'okubiri n'agoberera, ng'ayogera nti Kigudde kigudde Babulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwakyo.
9 Ne malayika omulala ow'okusatu n'abagoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Omuntu yenna bw'asinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, era bw'akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe,
10 oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriiti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga:
11 n'omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, na buli akkiriza enkovu y'erinnya lyayo.
12 Awo we wali okugumiikiriza kw'abatukuvu, abakwata ebiragiro bya Katonda n'okukkiriza kwa Yesu.
13 Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okutanula leero; weewaawo, bw'ayogera Omwoyo, balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo.
14 Ne ndaba, era, laba, ekire ekyeru; ne ku kire ne ndaba atuddeko eyali afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'alina ku mutwe gwe engule eya zaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky'obwogi.
15 Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu, ng'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti Teekako ekiwabyo kyo, okungule: kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi bikaze.
16 N'oyo atudde ku kire n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'ensi n'ekungulibwa.
17 Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu ey'omu ggulu, naye ng'alina ekiwabyo eky'obwogi.
18 Ne malayika omulala n'ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala.
19 Ne malayika n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'anoga omuzabbibu gw'ensi, n'akisuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda.
20 N'essogolero ne lirinnyirirwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, okutuuka ku nkoba z'embalaasi, n'okutuuka amabanga lukumi mu lukaaga.