Okubikkulirwa

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22


Essuula 9

1 Malayika ow'okutaano n'afuuwa, ne ndaba emmunyeenye ng'eva mu ggulu ng'egwa ku nsi: n'aweebwa ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma.
2 N'asumulula obunnya obutakoma; n'omukka ne guva mu bunnya ne gulinnya ng'omukka gw'enkoomi ennene, n'enjuba n'ebbanga ne bizikizibwa olw'omukka ogw'omu bunnya.
3 Ne mu mukka ne muva enzige ku nsi, ne ziweebwa obuyinza, ng'enjaba ez'obusagwa ez'omu nsi bwe zirina obuyinza.
4 Ne zigambibwa obutayonoona muddo gwa nsi, newakubadde ekintu kyonna ekibisi newakubadde omuti gwonna, wabula abantu bokka abatalina kabonero ka Katonda ku byenyi byabwe.
5 Ne ziweebwa obutabatta, wabula okubalumira emyezi etaano: n'okuluma kwazo kwali ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu.
6 Ne mu nnaku ezo abantu balinoonya okufa, so tebalikulaba n'akatono; era balyegomba okufa, era okufa nga kubadduka.
7 N'ebifaananyi by'enzige byafaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olutalo, ne ku mitwe gyazo ng'engule ezifaanana nga zaabu, n'amaaso gaazo ng'amaaso g'abantu.
8 Era zaalina enviiri ng'enviiri z'abakazi, n'amannyo gaazo gaali ng'ag'empologoma.
9 Era zaalina ebizibawo ng'ebizibawo eby'ekyuma, n'edoboozi ly'ebiwaawaatiro byazo ng'eddoboozi ly'amagaali, ery'embalaasi ennyingi nga zifubutuka okuyingira mu lutalo.
10 Era zirina emikira egifaanana ng'enjaba ez'obusagwa, n'emimwa; ne mu mikira gyazo mulimu obuyinza bwazo okulumira abantu emyezi etaano.
11 Zirina kabaka waazo malayika ow'obunnya obutakoma: erinnya mu Lwebbulaniya Abadoni, ne mu Luyonaani alina erinnya Apoliyaani.
12 Obubi obumu buyise: laba, obubi bubiri nate bujja oluvannyuma.
13 Malayika ow'omukaaga n'afuuwa, ne mpulira eddoboozi eryava mu nsonda ennya ez'ekyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda,
14 ng'agamba malayika ow'omukaaga eyalina akagombe nti Sumulula bamalayika abana abasibiddwa ku mugga omunene Fulaati.
15 Bamalayika abana ne basumululwa abaali bategekeddwa essaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu.
16 N'omuwendo gw'eggye ery'abeebagala embalaasi obukumi kakumi emirundi ebiri: ne mpulira omuwendo gwabwe.
17 Era bwe nnalaba bwe nti embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo abaali bazituddeko, nga bambadde eby'omu kifuba ng'eby'omuliro n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi ng'emitwe gy'empologoma; ne mu bumwa bwazo ne muva omuliro n'omukka n'ekibiriiti.
18 Mu bibonyoobonyo ebyo byonsatute, kwe kugamba nti omuliro n'omukka n'ekibiriiti ebyava mu bumwa bwazo, ne mufiira ekitundu eky'okusatu eky'abantu.
19 Kubanga obuyinza bw'embalaasi buli mu kamwa kaazo, ne mu mikira gyazo: kubanga emikira gyazo gifaanana ng'emisota, nga girina emitwe; era gye zirumisa.
20 N'abantu abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo ebyo, tebeenenya mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ebikomo n'eby'amayinja n'eby'emiti, ebitayinza kulaba newakubadde okuwulira, newakubadde okutambula:
21 ne bateenenya mu bussi bwabwe, newakubadde mu bulogo bwabwe, newakubadde mu bwenzi bwabwe, newakubadde mu bubbi bwabwe.