Essuula 18
1 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba malayika omulala ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; n'ensi n'emulisibwa ekitiibwa kye.
2 N'ayogerera waggulu n'eddoboozi ery'amaanyi, ng'ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n'ekkomera erya buli dayimooni, n'ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa.
3 Kubanga olw'omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b'ensi ne bayenda naye, n'abatunzi b'ensi ne bagaggawala olw'amaanyi g'obukaba bwe.
4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye:
5 kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye.
6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng'ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri.
7 Nga bwe yeegulumiza n'akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n'okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n'akatono.
8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n'ennaku, n'enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango.
9 Era bakabaka b'ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw'okwokebwa kwe,
10 nga bayimiridde wala olw'entiisa ey'okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky'amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse.
11 N'abatunzi ab'omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe;
12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n'olugoye olw'effulungu, ne aliiri, n'olugoye olumyufu; na buli muti ogw'omugavu, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo omungi ennyo, n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'ejjinja eddungi;
13 n'eky'akaloosa, n'ebinzaali, n'obubaane, n'omuzigo gw'omugavu, n'envumbo, n'omwenge, n'amafuta, n'obutta obulungi, n'eŋŋaano, n'ente n'endiga; n'obuguzi bw'embalaasi n'amagaali n'abaddu; n'emyoyo gy'abantu.
14 N'ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n'ebintu byonna ebiwooma n'ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate.
15 Abatunzi b'ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw'entiisa y'okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala;
16 nga boogera nti Zikisanze; zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo ne luulu!
17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n'abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy'omu nnyanja, ne bayimirira wala,
18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw'okwokebwa kwe, nga boogera nti Kiruwa ekifaanana ng'ekibuga ekinene?
19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw'omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira.
20 Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe.
21 Malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja ddene ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n'okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate.
22 Newakubadde eddoboozi ly'abakubi b'ennanga n'abalina ebivuga n'abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w'emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'olubengo teririwulirwa nate mu ggwe;
23 newakubadde okutangaala kw'ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi be baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa.
24 Era n'omusaayi gwa bannabbi n'abatukuvu n'ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.