Okubikkulirwa

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22


Essuula 19

1 Oluvannyuma lw'ebyo ne mpulira ng'eddoboozi eddene ery'ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; Obulokovu, n'ekitiibwa, n'obuyinza bye bya Katonda waffe:
2 kubanga emisango gye gya mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n'obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be mu mukono gw'oyo.
3 Omulundi ogw'okubiri ne boogera nti Aleruuya. N'omukka gwe gunyooka emirembe n'emirembe.
4 N'abakadde amakumi abiri mu bana n'ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya.
5 N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu.
6 Ne mpulira ng'eddoboozi ly'ekibiina ekinene, era ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okw'amaanyi, nga byogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w'ebintu byonna afuga.
7 Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw'Omwana gw'endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese.
8 N'aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa eby'obutuukirivu eby'abatukuvu.
9 N'aŋŋamba nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga ey'obugole bw'Omwana gw'endiga. N'aŋŋamba nti Ebyo bye bigambo eby'amazima ebya Katonda.
10 Ne nvuunama mu maaso g'ebigere bye okumusinza. N’aŋŋamba nti Laba tokola bw'otyo: Ndi muddu munno era ow'omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw'obunnabbi.
11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru n'eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana.
12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng'alina erinnya eriwandiikidwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka.
13 Era ng'ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n'erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda.
14 N'eggye ery'omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi.
15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky'obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n'omuggo ogw'ekyuma: era alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu bw'obukambwe bwa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna.
16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.
17 Ne ndaba malayika ng'ayimiride mu njuba; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukuŋŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda;
18 mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama ey'abagabe, n'ennyama ey'ab’amaanyi, n'ennyama ey'embalaasi n’ey'abo abazituulako, n'ennyama eya bonna ab'eddembe era n'abaddu, abato n'abakulu.
19 Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’ensi, n'eggye lyabwe nga bakuŋŋaanye okulwana n'oyo eyali atudde ku mbalaasi n'eggye lye.
20 Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y'ensolo, n'abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro eyaka n'ekibiriiti:
21 n'abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ky'oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n'ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe.