Okubikkulirwa

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22


Essuula 21

1 Ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya: kubanga eggulu ery'olubereberye n'ensi ey'olubereberye nga bigenze: n'ennyanja nga tekyaliwo.
2 Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba.
3 Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe:
4 naye alisangula buli, zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby'olubereberye biweddewo.
5 N'oyo atuula ku ntebe n'ayogera nti Laba, byonna mbizzizza buggya. N'ayogera nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima.
6 N'aŋŋamba nti Bituukiridde. Nze ndi Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa alina ennyonta okunywa mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu buwa.
7 Awangula alisikira ebyo: nange nnaabeeranga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.
8 Naye abati, n'abatakkiriza, n'abagwagwa, n’abassi, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe gulibeera mu nnyanja eyaka n'omuliro n'ekibiriiti; kwe kufa okw'okubiri.
9 Ne wajja omu ow'oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abajjula ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero; n'ayogera nange, ng'agamba nti Jjangu, nnaakulaga omugole, mukazi w'Omwana gw'endiga.
10 N'antwala mu Mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,
11 nga kirina ekitiibwa kya Katonda: okumasamasa kwakyo ng'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo, ng'ejjinja yasepi, eritangalijja:
12 nga kirina bbugwe omunene omuwanvu: nga kirina emiryango kkumi n'ebiri, ne ku miryango bamalayika kkumi na babiri; n'amannya agawandiikiddwako, ge g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaana ba Isiraeri:
13 ebuvanjuba emiryango esatu; era obukiika obwa kkono emiryango esatu; era obukiika obwa ddyo emiryango esatu; era ebugwanjuba emiryango esatu.
14 Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri, ne kubaako amannya kkumi n'abiri ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'Omwana gw'endiga.
15 Naye eyayogera nange yalina ekigera olumuli olwa zaabu okugera ekibuga, n'emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo.
16 N'ekibuga kyenkanyankanyizibwa enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo buli ng'obugazi, n'agera ekibuga n'olumuli, amabanga kakumi mu enkumi bbiri: obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo bwenkanankana.
17 N'agera bbugwe waakyo, emikono kikumi mu ana mu ena, ekigera ky'omuntu, kye kya malayika.
18 N'okuzimbibwa kwa bbugwe waakyo kwa yasepi: n'ekibuga kya zaabu ennungi, ng'endabirwamu ennungi.
19 Emisingi gya bbugwe w'ekibuga gyayonjebwa na buli jjinja ery'omuwendo omungi. Omusingi ogw'olubereberye yasepi; ogw'okubiri safiro; ogw'okusatu kalukedoni; ogw'okuna lya nnawandagala;
20 ogw'okutaano sadonukisi; ogw'omukaaga sadiyo; ogw'omusanvu kerusoliso; ogw'omunaana berulo; ogw'omwenda topazi; ogw'ekkumi kerusoperaso; ogw'ekkumi n'ogumu kuwakinso; ogw'ekkumi n'ebiri amesusito.
21 N'emiryango ekkumi n'ebiri luulu kkumi na bbiri, buli gumu ku miryango gwali gwa luulu emu: n'oluguudo olw'ekibuga zaabu ennungi, ng'endabirwamu etangalijja.
22 So ssaalabamu yeekaalu mu kyo: kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, n'Omwana gw'endiga, ye yeekaalu yaakyo.
23 So ekibuga tekyetaaga njuba newakubadde omwezi, okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n'ettabaaza yaakyo ye Mwana gw'endiga.
24 N'amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b'ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.
25 N'emiryango gyakyo tegiggalwenga n'akatono emisana (kubanga eyo ekiro tekiibengayo);
26 era balireeta ekitiibwa n'ettendo ery'amawanga mu kyo:
27 so temuliyingira mu kyo n'akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newakubadde akola eky'omuzizo n'obulimba: wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'endiga.