Okubikkulirwa

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22


Essuula 22

1 Yandaga omugga ogw'amazzi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga,
2 wakati w'oluguudo lwakyo. Era eruuyi n'eruuyi ew'omugga omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala ekkumi n'ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n'amalagala g'omuti ga kuwonya amawanga.
3 So teribaayo nate kikolimo: n'entebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga eneebeeranga omwo: n'abaddu be banaamuweerezanga,
4 era banaamulabanga amaaso ge; era erinnya lye linaabanga mu byenyi byabwe.
5 So teebenga kiro nate; so tebeetaaga kumulisa kwa ttabaaza n'omusana gw'enjuba; kubanga Mukama Katonda anaabawanga omusana: era banaafuganga emirembe n'emirembe.
6 N'aŋŋamba nti Ebigambo bino bya bwesige era bya mazima: era Mukama Katonda ow'emyoyo gya bannabbi yatuma malayika we okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu.
7 Era, laba, njija mangu. Aweereddwa omukisa akwata ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino.
8 Nange Yokaana nze nnawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne nvuunama okusinza mu maaso g'ebigere bya malayika andaga bino.
9 N'aŋŋamba nti Laba tokola bw'otyo: ndi muddu munno era ow'omu baganda bo bannabbi, n'abo abakwata ebigambo eby'ekitabo kino: sinza Katonda.
10 N'aŋŋamba nti Toteeka kabonero ku bigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino; kubanga obudde buli kumpi.
11 Ayonoona abeere ng'akyayonoona: era omugwagwa abeere ng'akyali mugwagwa: era n'omutuukirivu, abeere ng'akyakola obutuukirivu: era n'omutukuvu, abeere ng'akyali mutukuvu.
12 Laba, njija mangu; n'empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli.
13 Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye era omukoobezi, okusooka n'enkomerero.
14 Baweereddwa omukisa abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n'obuyinza ku muti ogw'obulamu, era balyoke bayingire mu kibuga nga bayita mu miryango.
15 Ebweru ye eri embwa, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi, n'abasinza ebifaananyi, na buli ayagala n'akola obulimba.
16 Nze Yesu ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ebyo olw'ekkanisa. Nze ndi kikolo era omuzukkulu wa Dawudi, emmunyeenye eyaka ey'enkya.
17 Era Omwoyo n'omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa.
18 Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby'obunnabi obw'ekitabo kino nti Omuntu yenna bw'ayongerangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino:
19 era omuntu yenna bw'aggyangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunnabbi buno, Katonda aliggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
20 Ategeeza bino ayogera nti Weewaawo: njija mangu. Amiina: jjangu, Mukama waffe Yesu.
21 Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga n'abatukuvu Amiina.