Essuula 5
1 Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu, ekisibiddwa ennyo obubonero omusanvu.
2 Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuulira n'eddoboozi ddene nti Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusanvu?
3 Ne watabaawo mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira.
4 Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabika eyasaanira okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira:
5 omu ku bakadde n'aŋŋamba nti Tokaaba: laba, Empologoma ow'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, yawangula, okwanjuluza ekitabo n'obubonero bwakyo omusanvu.
6 Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna.
7 N'ajja n'akiggya mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe.
8 Bwe yatoola ekitabo, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mu bana ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu.
9 Ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti Osaanidde okutoola ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n'ogulira Katonda olw'omusaayi gwo mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga,
10 n'obafuula eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona; era bafuga ku nsi.
11 Ne ndaba ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi abeetoolodde entebe n'ebiramu n'abakadde; n'omuwendo gwabwe gwali obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi;
12 nga boogera n'eddoboozi ddene nti Asaanidde Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n'obugagga n'amagezi n'amaanyi n'ettendo n'ekitiibwa n'omukisa.
13 Na buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne ku nnyanja, n'ebirimu byonna ne mbiwulira byonna nga byogera nti Eri oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga, omukisa gubenga n'ettendo n'ekitiibwa n'amaanyi emirembe n'emirembe.
14 N'ebiramu ebina ne byogera nti Amiina. N'abakadde ne bavuunama ne basinza.