Essuula 11
1 Ne mpeebwa olumuli olufaanana ng'omuggo, malayika ng'ayogera nti Golokoka, ogere yeekaalu ya Katonda, n'ekyoto, n'abasinzizaamu.
2 N'oluggya oluli ebweru wa yeekaalu luleke ebweru, so tolugera; kubanga lwaweebwa ab'amawanga: n'ekibuga ekitukuvu balikirinnyiririra emyezi amakumi ana mu ebiri.
3 Nange ndibawa abajulirwa bange babiri, era baliragulira ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bambadde ebibukutu.
4 Abo gye mizeyituuni ebiri n'ettabaaza ebbiri eziyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi.
5 Era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe: era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa.
6 Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba eremenga okutonnya mu nnaku ez'okutegeeza kwabwe: era balina obuyinza ku mazzi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonna, emirundi emingi nga bwe baagala.
7 Era bwe baliba nga bamaze okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bunnya obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribatta.
8 N'omulambo gwabwe guli mu luguudo lw'ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomererwa.
9 Era ab'omu bantu n'ebika n'ennimi n'amawanga baalabira omulambo gwabwe ennaku ssatu n'ekitundu, ne bataganya mirambo gyabwe okuziikibwa mu ntaana.
10 N'abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi.
11 Oluvannyuma lw'ennaku ziri essatu n'ekitundu, omwoyo gw'obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu bo ne bayimirira ku bigere byabwe okutya kungi ne kugwa ku bo abaabalaba.
12 Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga libagamba nti Mulinnye okutuuka wano. Ne balinnya mu ggulu mu kire; n'abalabe baabwe ne babalaba.
13 Ne mu ssaawa eri ne wabaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; ne battibwa abantu kasanvu mu kikankano: n'abo abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu ggulu.
14 Obubi obw'okubiri buyise: laba, obubi obw'okusatu bujja mangu.
15 Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n'emirembe.
16 N'abakadde amakumi abiri mu bana, abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda,
17 nga boogera nti Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi, n'ofuga.
18 Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bujja, n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu, n'ez'okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu, n'abatya erinnya lyo, abato n'abakulu; n'ez'okwonooneramu aboonoona ensi.
19 Ne yeekaalu ya Katonda ey'omu ggulu n'ebikkulwa; ne walabika mu yeekaalu ye essanduuko y'endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi.