Chapter 7
1 Awo Abakiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagireeta mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ne batukuza Eriyazaali mutabani we okukuumanga essanduuko ya Mukama.
2 Awo olwatuuka okuva ku lunaku essanduuko bwe yabeera mu Kiriyasuyalimu, ne wabaawo ekiseera kinene; kubanga gyali emyaka abiri n'ennyumba ya Isiraeri yonna ne banoonya Mukama nga banakuwala.
3 Awo Samwiri n'agamba ennyumba ya Isiraeri yonna nti Oba nga mukomawo eri Mukama n'omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abagenyi ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka: naye alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti.
4 Awo abaana ba Isiraeri ne balyoka baggyawo Babaali ne Baasutaloosi, ne baweereza Mukama yekka.
5 Awo Samwiri n'ayogera nti Mukuŋŋaanye Isiraeri yenna bajje e Mizupa, nange ndibasabira eri Mukama.
6 Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagafuka mu maaso ga Mukama, ne basiiba ku lunaku olwo, ne boogerera eyo nti Twasobya ku Mukama. Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri e Mizupa.
7 Awo Abafirisuuti bwe baawulira ng'abaana ba Isiraeri bakuŋŋanidde e Mizupa, abaami b'Abafirisuuti ne batabaala Isiraeri. N'abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti.
8 Abaana ba Isiraeri ne bagamba Samwiri nti Toleka kukaabira Mukama Katonda waffe ku lwaffe atulokole mu mukono gw'Abafirisuuti.
9 Awo Samwiri n'addira omwana gw'endiga oguyonka n’aguwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba eri Mukama: Samwiri n'akaabira Mukama ku lwa Isiraeri: Mukama n'amuddamu.
10 Awo Samwiri ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne basembera okulwana ne Isiraeri: naye Mukama n'abwatuka okubwatuka okunene ku lunaku olwo ku Bafirisuuti n'abakeŋŋentereza; ne bameggebwa wansi mu maaso ga Isiraeri.
11 Abasajja ba Isiraeri ne bava mu Mizupa ne bagoberera Abafirisuuti ne babatta okutuusa lwe baatuuka ku Besukali.
12 Awo Samwiri n'addira ejjinja, n'alisimba wakati w'e Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya lyalyo Ebenezeri, ng'ayogera nti Okutuusa kaakano Mukama atubedde.
13 Abafirisuuti ne bajeemululwa bwe batyo, ne batatuuka lwa kubiri mu nsalo ya Isiraeri: n'omukono gwa Mukama gwalwana n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Samwiri.
14 N'ebibuga Abafirisuuti bye baali baggye ku Isiraeri ne bizzibwa eri Isiraeri okuva ku Ekuloni okutuusa ku Gaasi; n’ensalo yaabyo Isiraeri n’agiggya mu mukono gw'Abafirisuuti. Ne Isiraeri n'Abamoli ne baba n'emirembe.
15 Samwiri n’alamulira Isiraeri ennaku zonna ez'obulamu bwe.
16 Ne yeetooloolanga buli mwaka n'agenda e Beseri ne Girugaali ne Mizupa; n'alamulira Isiraeri mu bifo ebyo byonna.
17 N'addangayo e Laama kubanga ye yali ennyumba ye; n’alamulira eyo Isiraeri: n'azimba eyo ekyoto eri Mukama.