Chapter 1
1 Awo waaliwo omusajja ow'e Lamasaimuzofimu, eky'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriku, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufu, Omwefulayimu:
2 era yalina abakazi babiri; omu erinnya lye nga ye Kaana, n'omulala erinnya lye nga ye Penina: era Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana.
3 Awo omusajja oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'alinnya okusinza n'okuweerayo mu Siiro ssaddaaka eri Mukama ow'eggye. Ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi, bakabona eri Mukama, baali eyo.
4 Awo olunaku bwe lwatuuka Erukaana kwe yaweerayo ssaddaaka, n'awa emigabo Penina mukazi we ne batabani be ne bawala be:
5 naye n'awa Kaana emigabo ebiri: kubanga yamwagala Kaana, naye Mukama yali aggalidde olubuto lwe.
6 Muggya we n'amusunguwaza nnyo okumweraliikiriza, kubanga Mukama yali aggalidde olubuto lwe.
7 Awo musajja we bwe yakolanga bw'atyo buli mwaka, ye bwe yalinnyanga okugenda mu nnyumba ya Mukama, n'amusunguwaza bw'atyo; kyeyava akaaba amaziga n'agaana okulya.
8 Awo Erukaana musajja we n'amugamba nti Kaana, okaabira ki? kiki ekikulobera okulya? n'omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? nze sisinga baana kkumi gy'oli obulungi?
9 Awo Kaana n'agolokoka nga bamaze okulya mu Siiro, era nga bamaze okunywa. Awo Eri kabona yali ng'atudde ku ntebe ye awaali omufuubeeto ogw'omu yeekaalu ya Mukama.
10 N'omwoyo gwe gwali nga gumuluma, n'asaba Mukama, n'akaaba nnyo amaziga.
11 Ne yeeyama obweyamo n'ayogera nti Ai Mukama ow'eggye, bw'oliba ng'otunuulidde ennaku omuzaana wo z'alabye, n'onjijukira n'oteerabira muzaana wo, naye n'owa omuzaana wo omwana ow'obulenzi, awo ndimuwa Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwe, so n'akamwano tekaliyita ku mutwe gwe:
12 Awo olwatuuka, bwe yeeyongera okusaba mu maaso ga Mukama, Eri ne yekkaanya akamwa ke.
13 Era Kaana yayogera mu mwoyo gwe; emimwa gye gye gyatoobera, naye eddoboozi lye teryawulikika. Eri kyeyava alowooza nti atamidde.
14 Eri n'amugamba nti Olituusa wa okutamiiranga? weggyeeko omwenge gwo.
15 Kaana n'addamu n'ayogera nti Nedda, mukama wange, nze ndi mukazi alina emwoyo ogunakuwadde: sinywedde mwenge newakubadde ekitimiiza, naye nfuse ebiri mu mmeeme yange mu maaso ga Mukama.
16 Toyita muzaana wo muwala wa Beriali: kubanga mu kwemulugunya kwange okusukkiridde ne mu kunyiiga kwange mwe nnyimye okwogera okutuusa kaakano.
17 Awo Eri n'addamu n’ayogera nti Genda mirembe: era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by'omusabye.
18 N'ayogera nti omuzaana wo alabe ekisa mu maaso go. Awo omukazi ne Yeddirayo, n'alya, amaaso ge ne gatatokooterera lwa kubiri.
19 Awo ne bagolokoka enkya mu makya, ne basinza mu maaso ga Mukama ne baddayo eka, ne batuuka mu nnyumba yaabwe mu Laama: Erukaana n'amanya Kaana mukazi we; Mukama n'amujjukira.
20 Awo olwatuuka ebiro bwe byatuuka Kaana n'aba olubuto nazaala omwana wa bulenzi; n'amutuuma erinnya lye Samwiri, nti Kubanga namusaba eri Mukama.
21 Omusajja Erukaana n'ennyumba ye yonna ne balinnya okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka eri Mukama n'obweyamo bwe.
22 Naye Kaana n'atalinnya; kubanga Yagamba bba nti Sijja kulinnyayo okutuusa omwana lw'aliva ku mabeere, ne ndyoka mmutwala alabike mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.
23 Erukaana bba n'amugamba nti Kola nga bw'osiima; beera awo okutuusa lw'olimala okumuggya ku mabeere; kyokka Mukama anyweze ekigambo kye. Awo omukazi n'abeera awo n'ayonsa omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.
24 Awo bwe yamala okumuggya ku mabeere, n'amutwala n'agenda naye n'alinnya, ng'alina ente ssatu, ne efa emu ey'obutta, n'ekita eky'omwenge, n'amutwala mu nnyumba ya Mukama mu Siiro: era omwana yali muto.
25 Ne batta ente ne baleetera Eri omwana.
26 N'amugamba nti Ai mukama wange, nga bw'oli omulamu, mukama wange, nze ndi nukazi oyo eyayimirira w'oli wano, nga nsaba Mukama.
27 Omwana ono gwe nnasaba; era Mukama yampa ebyo bye nnamusaba;
28 nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu aweereddwayo eri Mukama. Ye n'asinziza Mukama eyo.