Chapter 6
1 Awo essanduuko ya Mukama yamala emyezi musanvu ng'eri mu nsi ey'Abafirisuuti.
2 Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n'abafumu, nga boogera nti Tunaakola tutya essanduuko ya Mukama? tutegeeze bwe tuba tugiweereza okugenda mu kifo kyayo.
3 Ne boogera nti Bwe munaasindika essanduuko ya Katonda wa Isiraeri okugenda, temugisindika njereere; naye temulema kumuweereza ekiweebwayo olw'omusango: ne mulyoka muwona, era kiritegeerwa mmwe ekirobera okubaggyako omukono gwe.
4 Awo ne boogera nti Ekiweebwayo olw'omusango kye tulimuweereza kiriba ki? Ne boogera nti Ebizimba ebya zaabu bitaano n'emisonso egya zaabu etaano, ng'abaami b'Abafirisuuti bwe benkana omuwendo: kubanga ekibonoobono ekimu kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe.
5 Kyemunaava mwekolera ebifaananyi by'ebizimba byammwe n'ebifaananyi by'emisonso gyammwe egyonoona ensi; era muliwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri: mpozzi aliggya omukono gwe ku mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe.
6 Kale mukakanyaliza ki emitima gyammwe, nga Abamisiri ne Falaawo bwe baakakanyaza emitima gyabwe? bwe yamala okukola mu bo eby'ekitalo, tebakkiriza bantu kugenda ne bagenda?
7 Kale nno kaakano muddire eggaali empya mugyeteekereteekere, n'ente bbiri eziramulwa, ezitateekebwangako kikoligo, musibe ente ku ggaali, muziggyeko ennyana zaazo muzizze eka:
8 muddire essanduuko ya Mukama, mugiteeke ku ggaali; muteeke ebintu ebya zaabu, bye mumuweereza okuba ekiweebwayo olw'omusango, mu bbweta ku mabbali gaayo; mugisindike egende.
9 Awo mutegeere, bw'eryambukira mu kkubo ery'ensalo yaayo okugenda e Besusemesi, awo nga ye yatukoze ekibi kino ekinene: naye bwe kitaliba bwe kityo, awo tulitegeera ng'omukono gwe si gwe gwatukuba; kyatugwira bugwizi.
10 Abasajja ne bakola bwe batyo; ne baddira ente bbiri eziramulwa, ne bazisiba ku ggaali, ne basiba ennyana zaazo eka.
11 ne bateeka essanduuko ya Mukama ku ggaali, n'ebbweta erimu emisonso egya zaabu n'ebifaananyi by'ebizimba byabwe.
12 Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemesi, zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono; abaami b'Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo eye Besusemesi.
13 N'Ababesusemesi baali nga bakungula eŋŋaano Yaabwe mu kiwonvu: ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba essanduuko ne basanyuka okugiraba.
14 Eggaali n'ejja mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi n'eyimirira eyo, awaali ejjinja eddene: ne baasa emiti egy'eggaali, ne bawaayo ente ezo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
15 Awo Abaleevi ne bassa essanduuko ya Mukama n'ebbweta eyali nayo omwali ebintu ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eryo eddene: Ababesusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne basala ssaddaaka ku lunaku olwo eri Mukama.
16 N'abaami abataano ab'Abafirisuuti bwe baakiraba, ne baddayo e Ekuloni ku lunaku olwo.
17 N'ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza Mukama okuba ekiweebwayo olw'omusango bye bino: ekya Asudodi kimu, ekya Gaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi kimu, ekya Ekuloni kimu;
18 n'emisonso egya zaabu ng'ebibuga byonna eby'Abafirisuuti eby'abaami abataano bwe byenkana omuwendo, ebibuga ebiriko enkomera era n'embuga ez'omu byalo: okutuusa ku jjinja eryo eddene, kwe bassa ssanduuko ya Mukama, eririwo na guno gujwa mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi.
19 N'atta ku Babesusemesi, kubanga baali balingizizza mu ssanduuko ya Mukama, n'atta ye ku bantu abasajja obukumi butaano mu nsanvu: abantu ne banakuwala, kubanga Mukama yatta abantu olutta olunene.
20 Ababesusemesi ne boogera nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama Katonda ono omutukuvu? era eri ani gy'alirinnya ng'atuvuddeko?
21 Ne batumira abo abaatuula mu Kiriyasuyalimu ababaka, nga boogera nti Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama; muserengete mmwe, mugikime erinnye gye muli.