Chapter 13
1 Sawulo yali nga yaakamaze emyaka asatu bwe yatanula okufuga; n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
2 Sawulo ne yeerondera abasajja ba Isiraeri enkumi ssatu; ku abo enkumi bbiri baabanga ne Sawulo e Mikumasi ne ku lusozi olw'e Beseri; n'olukumi baabanga ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini: n'abantu abalala bonna n'abasindika buli muntu mu weema ye.
3 Yonasaani n'akuba ekigo eky'Abafirisuuti ekyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Sawulo n'afuuwa ekkondeere okubuna ensi yonna, ng'ayogera nti Abaebbulaniya bawulire.
4 Isiraeri yenna ne bawulira nga boogera nga Sawulo akubye ekigo eky'Abafirisuuti era nga Isiraeri Abafirisuuti bamutamiddwa. Abantu ne bakuŋŋaanira e Girugaali okugoberera Sawulo.
5 Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okulwana ne Isiraeri, amagaali obukumi busatu, n'abasajja abeebagala embalaasi kakaaga, n'abantu abaali ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi: ne bambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Besaveni.
6 Awo abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga bali bubi (kubanga abantu baali balabye ennaku,) awo abantu ne beekweka mu mpuku ne mu bisaka ne mu mayinja ne mu mpampagama ne mu bunnya.
7 Era abamu ku Baebbulaniya baali basomose Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi: naye Sawulo yali ng'akyali e Girugaali, abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana:
8 N'amala ennaku musanvu ng'ebiro bwe byali Samwiri bye yateekawo: naye Samwiri nga tannajja e Girugaali; abantu ne basaasaana nga bamuvaako.
9 Sawulo n'ayogera nti Ndeetera wano ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe: Naawaayo ekiweebwayo ekyokebwa.
10 Awo olwatuuka nga kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, laba, Samwiri n'ajja; Sawulo n'afuluma okumusisinkana amulamuse.
11 Samwiri n'ayogera nti Okoze ki? Sawulo n'ayogera nti Kubanga nalabye ng'abantu basaasaanye nga banvaako so naawe nga tojja mu biro ebyateekebwawo n'Abafirisuuti nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi;
12 kyennavudde njogera nti Abafirisuuti banaaserengeta e Girugaali okulwana nange, so sinnaba kwegayirira kisa kya Mukama: kyennavudde neegumiikiriza n'empaayo ekiweebwayo ekyokebwa.
13 Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Wakoze kya busirusiru: tokutte kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira: kubanga kaakano Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo ku Isiraeri ennaku zonna.
14 Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera: Mukama yeenoonyerezza omusajja aliŋŋanga omutima gwe ye, era Mukama amutaddewo okuba omukulu w'abantu be, kubanga tokutte ekyo Mukama kye yakulagira.
15 Awo Samwiri n'agolokoka n'ava e Girugaali n'ayambuka e Gibea ekya Benyamini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga.
16 Sawulo ne Yonasaani mutabani we n'abantu abaali awamu nabo ne batuula e Geba ekya Benyamini: naye Abafirisuuti ne basiisira e Mikumasi.
17 Abakwekwesi ne bava mu lusiisira olw'Abafirisuuti ebibiina bisatu: ekibiina ekimu ne badda mu kkubo erigenda e Yofula, mu nsi ya Suwaali:
18 n'ekibiina ekirala ne badda mu kkubo erigenda e Besukolooni: n'ekibiina ekirala ne badda mu kkubo ery'ensalo w'oyima waggulu okutunuulira ekiwomvu Zeboyimu ku luuyi olw'eddungu.
19 Awo newatalabika muweesi mu nsi yonna eya Isiraeri: kubanga Abafirisuuti baayogera nti Abaebbulaniya baleme okweweeseza ebitala oba mafumu:
20 naye Abaisiraeri bonna ne baserengeta eri Abafirisuuti okuwagala buli muntu enkumbi ye n'ekiwabyo kye n'embazzi ye n'ekifumu kye;
21 naye baalina muyamba olw'ebifumu n'ebiwabyo n'amakato n'embazzi; n'olw'okuwagala emiwunda.
22 Awo olwatuuka mu biro eby'entalo ne watalabika kitala newakubadde effumu mu mukono gw'omuntu yenna ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani: naye Sawulo ne Yonasaani mutabani we be baalina.
23 N'Abafirisuuti ab'omu kigo ne bafuluma ne bagenda awayitibwa mu Mikumasi.