Chapter 11
1 Awo Nakkasi Omwamoni n'ayambuka n'asiisira okwolekera Yabesugireyaadi: abasajja bonna ab'e Yabesi ne bagamba Nakkasi nti Lagaana naffe endagaano, naffe tulikuweereza:
2 Nakkasi Omwamoni n'abagamba nti Bwe ntyo bwe nnaalagaana nammwe, amaaso gammwe gonna aga ddyo gaggibwemu; nange ndikiteeka ku Isiraeri yenna okuba ekivume.
3 Abakadde ab'e Yabesi ne bamugamba nti Tuwe ebbanga ery'ennaku musanvu tutume ababaka mu nsalo zonna eza Isiraeri: awo bwe wataliba ow'okutulokola, tulifuluma ne tujja gy'oli.
4 Awo ababaka ne bajja e Gibea ekya Sawulo ne boogerera ebigambo ebyo mu matu g'abantu: awo abantu bonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga.
5 Awo, laba, Sawulo n'ajja ng'agoberera ente okuva mu nnimiro; Sawulo n'ayogera nti Abantu babadde batya okukaaba amaziga? Ne bamubuulira ebigambo by'abasajja ab'e Yabesi.
6 Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, bwe yawulira ebigambo ebyo, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo.
7 Awo n'addira ente bbiri n'azitematema n'aziweereza okubuna ensalo zonna eza Isiraeri mu mikono gy'ababaka ng'ayogera nti Buli atalifuluma okugoberera Sawulo ne Samwiri, bwe zityo ente ze bwe zirikolebwa. Ekitiibwa kya Mukama ne kigwa ku bantu, ne bafuluma ng'omuntu omu.
8 N'ababalira e Bezeki; awo abaana ba Isiraeri baali obusiriivu busatu, n'abasajja ba Yuda baali obukumi busatu.
9 Ne bagamba ababaka abajja nti Bwe mutyo bwe munaagamba abasajja ab'e Yabesugireyaadi nti Enkya, omusana nga gwase, munaafuna obulokozi. Ababaka ne bajja ne babuulira abasajja ab'e Yabesi; ne basanyuka.
10 Abasajja ab'e Yabesi kyebaava boogera nti Enkya tunaafuluma ne tujja gye muli mutukole byonna bye musiima.
11 Awo olwatuuka enkya Sawulo n'ayawulamu abantu ebibiina bisatu; ne batuuka wakati mu lusiisira mu kisisimuka eky'enkya, ne bakuba Abamoni okutuusa omusana lwe gwakaza: awo olwatuuka abaasigalawo ne basaasaana okusigala ne watasigala babiri ku bo abaali awamu.
12 Abantu ne bagamba Samwiri nti Ani oyo eyayogera nti Sawulo alitufuga? leeta abasajja abo tubatte.
13 Sawulo n'ayogera nti Tewaabeewo muntu anattibwa leero: kubanga leero Mukama akoze obulokozi mu Isiraeri.
14 Awo Samwiri n'agamba abantu nti Mujje tugende e Girugaali, tunyweze eyo nate obwakabaka.
15 Abantu bonna ne bagenda e Girugaali; Sawulo ne bamufuulira eyo kabaka mu maaso ga Mukama e Girugaali; ne basalira eyo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama; Sawulo n'abasajja bonna aba Isiraeri ne basanyukira nnyo eyo.