Chapter 10
1 Awo Samwiri n'addira eccupa y'amafuta n'agafuka ku mutwe gwe n'amunywegera n'ayogera nti Mukama si ye akufuseeko amafuta okuba omukulu w'obusika bwe?
2 Bw'onoova gye ndi leero, onoolaba abasajja babiri ku malaalo ga Laakeeri, mu nsalo ya Benyamini e Zereza; awo banaakugamba nti Endogoyi ze wagenda okunoonya zirabise: era, laba, kitaawo aleseeyo okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ggwe ng'ayogera nti Naakola ntya olw'omwana wange?
3 Awo onoovaayo ne weeyongera okugenda mu maaso n'otuuka awali omwera gwa Taboli, onoosiŋŋaanwa eyo abasajja basatu nga bambuka eri Katonda e Beseri, omu ng'atwala abaana b'embuzi basatu, n'omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ekita eky'omwenge:
4 awo banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri: gy'oba otoola mu ngalo zaabwe.
5 N'olyoka otuuka ku lusozi lwa Katonda awali ekigo eky'Abafirisuuti: awo olunaatuuka, bw'onooba ng'otuuse eyo mu kibuga, onoosiŋŋaana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu nga balina entongooli n'ebitaasa n'endere n'ennanga nga bibakulembedde; era banaaba nga balagula:
6 awo omwoyo gwa Mukama gunajja ku ggwe n'amaanyi, n'olagulira wamu nabo, n'ofuuka okuba omuntu omulala.
7 Awo olunaatuuka, obubonero obwo nga bukutuuseeko, okolanga ng'omukono gwo bwe gunaasanga bwe biri; kubanga Katonda ali naawe.
8 Era ononkulembera n'oserengeta e Girugaali; nange, laba, ndiserengeta gy'oli, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okusala ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe: olimalayo ennaku musanvu ndyoke njije gy'oli nkutegeeze by'oba okola.
9 Awo olwatuuka bwe yakyusa amabega ge okuva Samwiri w'ali, Katonda n'amuwa omutima omulala: obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.
10 Awo bwe baatunkayo eri olusozi, laba, ekibiina kya bannabbi ne kisisinkana naye; omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye n'amaanyi, n'alagula mu bo.
11 Awo olwatuuka bonna abaamumanyanga edda bwe baamulaba, laba, ng'alagulira wamu ne bannabbi, awo abantu nga bagambagana nti Kiki kino ekimujjiridde mutabani wa Kiisi? ne Sawulo ali mu bannabbi?
12 Awo omuntu ow'omu kifo omwo n'addamu n'ayogera nti Ne kitaabwe ye ani? Kyerwava lufuuka olugero nti Ne Sawulo ali mu bannabbi?
13 Awo bwe yamala okulagula n'ajja mu kifo ekigulumivu.
14 Awo kojja wa Sawulo n'amugamba ye n'omuddu we nti Mwagenda wa? Naayogera nti Okunoonya endogoyi: awo bwe twalaba nga tezirabise ne tujja eri Samwiri.
15 Kojja wa Sawulo n'ayogera nti Mbuulira, nkwegayiridde, Samwiri bye yabagamba.
16 Sawulo n'agamba kojjaawe nti Yatubuulirira ddala ng'endogoyi zirabise. Naye ebigambo eby'obwakabaka, Samwiri bye yayogera, teyabimubuulirako.
17 Samwiri n'ayita abantu n'abakuŋŋaanyiza eri Mukama e Mizupa;
18 n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Naggya Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw'Abamisiri ne mu mukono gw'obwakabaka bwonna obwabajooganga:
19 naye leero mugaanyi Katonda wammwe, abalokola yennyini mu nnaku zammwe zonna n'obuyinike bwammwe; era mumugambye nti Nedda naye ssaawo kabaka atufuge. Kale nno kaakano mweyanjule mu maaso ga Mukama ng'ebika byammwe bwe biri; era ng'enkumi zammwe bwe ziri.
20 Awo Samwiri n'asembeza ebika byonna ebya Isiraeri; ekika kya Benyamini ne kitwalibwa.
21 N'asembeza ekika kya Benyamini ng'ennyumba zaabwe bwe zaali, ennyumba ey'Abamateri n'etwalibwa: Sawulo mutabani wa Kiisi n'atwalibwa; naye bwe baamunoonya, ne batayinza kumulaba.
22 Awo ne beeyongera okubuuza Mukama nti Ekyasigaddeyo omusajja ow'okujja eno? Mukama n'addamu nti Laba, yeekwese mu bintu.
23 Ne badduka mbiro ne bamuggyayo; awo bwe yayimirira mu bantu, ng'asinga abantu bonna obuwanvu okuva ku bibegabega bye n'okwambuka.
24 Awo Samwiri n'agamba abantu bonna nti Mulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu Bantu bonna? Abantu bonna ne boogerera waggulu ne boogera nti Kabaka abeere omulamu.
25 Awo Samwiri n'alyoka abuulira abantu obwakabaka bwe bulifaanana, n'abiwandiika mu kitabo n'akitereka mu maaso ga Mukama. Samwiri n'asindika abantu bonna bagende buli muntu mu nnyumba ye.
26 Ne Sawulo naye n'agenda mu nnyumba e Gibea; ne wagenda naye eggye Katonda be yali akomyeko ku mitima gyabwe.
27 Naye ne wabaawo abaana ba Beriali abaayogera nti Omusajja oyo alitulokola atya? Ne bamunyooma ne batamuleetera kirabo. Naye ye n'asirika.