Chapter 28
1 Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe entalo okulwana ne Isiraeri. Akisi n'agamba Dawudi nti Tegeerera ddala ng'olitabaala nange mu ggye, ggwe n'abasajja bo.
2 Dawudi n'agamba Akisi nti Kyoliva otegeera omuddu wo by'alikola. Akisi n'agamba Dawudi nti Kyendiva nkufuula omukuumi w'omutwe gwange ennaku zonna.
3 Awo Samwiri yali afudde, ne Isiraeri yenna baali bamukaabidde, ne bamuziika mu Laama, mu kibuga kye ye. Era Sawulo yali aggye mu nsi abo abaaliko emizimu n'abafumu.
4 Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana ne bajja ne basiisira e Sunemu: awo Sawulo n'akuŋŋaanya Isiraeri yonna ne basiisira ku Girubowa.
5 Awo Sawulo bwe yalaba eggye ly'Abafirisuuti, n'atya, omwoyo gwe ne gukankana nnyo:
6 Awo Sawulo bwe yabuuza Mukama, Mukama n'atamwanukula newakubadde mu birooto newakubadde mu Ulimu newakubadde mu bannabbi.
7 Awo Sawulo n'alyoka agamba abaddu be nti Munnoonyeze omukazi aliko omuzimu ŋŋende gy'ali mubuuze. Abaddu be ne bamugamba nti Laba, waliwo omukazi aliko omuzimu e Endoli.
8 Sawulo ne yeekyusa n'ayambala ebyambalo ebirala n'agenda, ye n'abasajja babiri naye, be bajja eri omukazi ekiro: n'ayogera nti Ndagula, nkwegayiridde, n'omuzimu, onninnyisize buli gwe nnaakugambako erinnya.
9 Awo omukazi n'amugamba nti Laba, omanyi Sawulo bye yakola, bwe yazikiriza mu nsi abo abaliko emizimu, n'abafumu: kale kiki ekikuteeza obulamu bwange ekyambika okunzisa.
10 Sawulo n'alayirira Mukama ng'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, tekulikubaako kibonerezo kyonna olw'ekigambo kino.
11 Awo omukazi n'ayogera nti Ani gwe mba nkulinnyisiza? N'ayogera nti Nninnyisiza Samwiri.
12 Awo omukazi bwe yalaba Samwiri, n'akaaba n'eddoboozi ddene: omukazi n'agamba Sawulo nti Onnimbidde ki? Kubanga ggwe oli Sawulo.
13 Kabaka n'amugamba nti Totya: kubanga olaba ki? Omukazi n'agamba Sawulo nti Ndaba katonda ng'ava mu ttaka ng'ayambuka.
14 N'amugamba nti Embala ye eri etya? N'ayogera nti Omukadde ayambuka; era yeenagiddeko omunagiro. Sawulo n'ategeera nga Samwiri, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.
15 Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Lwaki okungolokosa okunninnyisa? Sawulo n'addamu nti Neeraliikiridde nnyo; kubanga Abafirisuuti balwana nange, era Katonda anvuddeko, so takyannyanukula newakubadde mu bannabbi newakubadde mu birooto: kyenvudde nkuyita ontegeeze bye mba nkola.
16 Awo Samwiri n'ayogera nti Obuuliza ki nze nno, Mukama ng'akuvuddeko era ng'afuuse mulabe wo?
17 Era Mukama yeekoledde omulimu, nga bwe yayogerera mu nze: era Mukama ayuzizza obwakabaka ng'abuggya mu mukono gwo era abuwadde muliraanwa wo, Dawudi.
18 Kubanga tewagondera ddoboozi lya Mukama n'ototuukiriza kiruyi kye ekingi ku Amaleki, Mukama kyavudde akukola ekigambo kino leero.
19 Era nate Mukama anaagabula ne Isiraeri wamu naawe mu mukobo gw'Abafirisuuti: era enkya ggwe ne batabani bo banaaba nange: Mukama anaagabula n'eggye lya Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.
20 Awo Sawulo n'alyoka agwa ku ttaka ng'alambadde, n'atya nnyo, olw'ebigambo bya Samwiri: ne mutamusigalamu maanyi; kubanga yali talidde ku mmere yonna okuzibya obudde n'okukeesa.
21 Omukazi n'ajja eri Sawulo, n'alaba nga yeeraliikiridde nnyo, n'amugamba nti Laba, omuzaana wo awulidde eddoboozi lyo ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange ne mpulira ebigambo byo by'oŋŋambye.
22 Kale nno, nkwegayiridde, naawe wulira eddoboozi ly'omuzaana wo, era nteeke akamere mu maaso go; olye olyoke obe n'amaanyi bw'onoogenda.
23 Naye n'agaana n'ayogera nti Siirye. Naye abaddu be awamu n'omukazi ne bamuwaliriza; n'awulira eddoboozi lyabwe. Awo n'agolokoka okuva wansi n'atuula ku kitanda.
24 Era omukazi yalina ennyana eya ssava mu nnyumba; n'ayanguwa n'agitta; n'addira obutta n'abugoya n'abwokya okuba omugaati ogutazimbulukuswa:
25 n'aguleeta mu maaso ga Sawulo ne mu maaso g'abaddu be; ne balya. Awo ne bagolokoka ne bagenda ekiro ekyo.