Chapter 27
1 Awo Dawudi n'ayogera mu mwoyo gwe nti Luliba lunaku lumu ne nzikirira olw'omukono gwa Sawulo: tewali kisinga bulungi gye ndi okudduka ne ntuuka mu nsi ey'Abafirisuuti; kale Sawulo aliggyayo omwoyo gye ndi, okunnoonya nate mu nsalo zonna eza Isiraeri: bwe ndiwona bwe ntyo mu mukono gwe.
2 Dawudi n'agolokoka n'agenda, ye n'abasajja olukaaga abaali naye, ne basenga Akisi mutabani wa Mawoki, kabaka w'e Gaasi.
3 Dawudi n'atuula ne Akisi e Gaasi, ye n'abasajja be, buli muntu n'ab'omu nnyumba, Dawudi ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, mukazi wa Nabali
4 Ne babuulira Sawulo nga Dawudi yaddukira e Gaasi: n'atamunoonya nate.
5 Awo Dawudi n'agamba Akisi nti Oba nga nno ŋŋanze mu maaso go, bampe ekifo mu mbuga emu mu byalo ntuule eyo: kubanga kiki ekinaaba kituuza omuddu wo mu kibuga kyennyini awamu naawe?
6 Awo Akisi n'amuwa Zikulagi ku lunaku olwo: Zikulagi kyekivudde kibeera ekya bakabaka ba Yuda na buli kati.
7 Awo omuwendo gw'ennaku Dawudi ze yamala mu nsi ey'Abafirisuuti gwali mwaka mulamba ko emyezi ena.
8 Dawudi n'abasajja be ne bambuka ne bakwekweta Abagesuli n'Abagiruzi n'Abamaleki: kubanga abo be baatuulanga mu nsi, abaabangamu edda, ng'ogenda e Ssuuli, okugenda mu nsi ey'e Misiri.
9 Dawudi n'atta ensi n'atawonya musajja newakubadde omukazi, n'anyaga endiga n'ente n'endogoyi n'eŋŋamira n'ebyambalo; n'akomawo n'ajja eri Akisi.
10 Awo Akisi n'ayogera nti Muva wa okukwekweta leero? Dawudi n'ayogera nti Ebukiika obwa ddyo obwa Yuda n'obukiika obwa ddyo obw'Abayerameeri n'obukiika obwa ddyo obw'Abakeeni.
11 Dawudi n'atawonya musajja newakubadde omukazi okubaleeta e Gaasi, ng'ayogera nti Baleme okutuloopa nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bwe yakola, era bwe yayisanga bw'atyo kasookedde atuula mu nsi ey'Abafirisuuti.
12 Awo Akisi n'akkiriza Dawudi n'ayogera nti Abantu be Isiraeri abatamiriddwa ddala; kyaliva abeera omuddu wange ennaku zonna.