Chapter 22
1 Dawudi kyeyava avaayo, n'adduka n'atuuka ku mpuku ya Adulamu: awo baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna bwe baakiwulira, ne baserengeta ne bagendayo gy'ali.
2 Awo buli muntu eyali alaba ennaku na buli muntu eyalina ebbanja na buli eyalina obuyinike, ne bakuŋŋaana gy'ali; n'afuuka omukulu waabwe: awo ne waba naye abasajja nga bikumi bina.
3 Awo Dawudi n'avaayo n'agenda e Mizupa ekya Mowaabu: n'agamba kabaka wa Mowaabu nti Kitange ne mmange bafulume babe nammwe, okutuusa lwe ndimanya Katonda by'alinkolera.
4 Awo n'abaleeta mu maaso ga kabaka wa Mowaabu: ne batuula naye ekiseera kyonna Dawudi ng'akyali mu mpuku.
5 Awo nnabbi Gaadi n'agamba Dawudi nti Tobeera mu mpuku; genda, otuuke mu nsi ya Yuda. Awo Dawudi n'agenda n'atuuka mu kibira Keresi.
6 Awo Sawulo n'awulira nga Dawudi alabise n'abasajja abaali naye: era Sawulo yali atudde e Gibeya, munda w'omumyuliru mu Laama, ng'akutte effumu lye mu ngalo, n'abaddu be bonna baali bayimiridde okumwetooloola.
7 Sawulo n'agamba abaddu be abaali bayimiridde okumwetooloola nti Muwulire nno, mmwe Ababenyamini; mutabani wa Yese aliwa buli muntu ku mmwe ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu, alibafuula mwenna okuba abaami b'enkumi era abaami b'ebikumi;
8 mwenna ne muneekobaana, so tewali ambikkulira mutabani wange bw'alagaana endagaano ne mutabani wa Yese, so tewali ku mmwe ansaasidde, newakubadde antegeeza nga mutabani wange yampererera omuddu wange okuteega nga leero?
9 Awo Dowegi Omwedomu, eyayimirira awali abaddu ba Sawulo, n'alyoka addamu n'ayogera nti Nalaba mutabani wa Yese ng'ajja e Nobu, eri Akimereki mutabani wa Akitubu.
10 N'amubuuliza eri Mukama n'amuwa ebyokulya n'amuwa ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.
11 Awo kabaka n'alyoka atuma okuyita Akimereki kabona, mutabani wa Akitubu, n'ennyumba yonna eya kitaawe: bakabona abaali e Nobu ne bajja bonna eri kabaka.
12 Sawulo n'ayogera nti Wulira nno, ggwe mutabani wa Akitubu. N'addamu nti Nze nzuuno, mukama wange.
13 Sawulo n'amugamba nti Mwanneekobaanira ki, ggwe ne mutabani wa Yese, kubanga wamuwa emigaati n'ekitala; n'omubuuliza eri Katonda, angolokokereko, okuteega nga leero?
14 Awo Akimereki n'addamu kabaka n'ayogera nti Era ani ku baddu bo bonna amwenkana Dawudi obwesigwa, ye mukoddomi wa kabaka, era ayingizibwa mu kuteesa kwo era ow'ekitiibwa mu nnyumba yo?
15 Nsoose leero okumubuuliza eri Katonda? kiddire eri: kabaka aleme okussaako omuddu we ekigambo kyonna, newakubadde ennyumba ya kitange yonna: kubanga omuddu wo taliiko ky'amanyi ku bino byonna, newakubadde ebitono newakubadde ebingi.
16 Kabaka n'ayogera nti Tooleme kufa, Akimereki, ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna,
17 Awo kabaka n'agamba abambowa abaali bayimiridde okumwetooloola nti Mukyuke mutte bakabona ba Mukama; kubanga n'omukono gwabwe guli ne Dawudi, era kubanga baamanya nga yadduka, ne batakimbikkulira. Naye abaddu ba kabaka ne bagaana okussaawo omukono gwabwe okugwa ku bakabona ba Mukama.
18 Awo kabaka n'agamba Dowegi nti Kyuka ggwe obagweko bakabona. Awo Dowegi Omwedomu n'akyuka n'agwa ku bakabona, n'atta ku lunaku olwo abantu kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu eya bafuta.
19 Ne Nobu, ekibuga kya bakabona, n'akitta n'obwogi bw'ekitala, abasajja era n'abakazi, abaana abato n'abayonka, n'ente n'endogoyi n'endiga, n'obwogi bw'ekitala.
20 Awo omwana omu owa Akimereki, mutabani wa Akitubu, erinnya lye Abiyasaali, n'awona n'adduka okugoberera Dawudi.
21 Abiyasaali n'abuulira Dawudi Sawulo ng'asse bakabona ba Mukama.
22 Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali nti Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga talirema kumubuulira Sawulo: nze nassa abantu bonna ab'omu nnyumba ya kitaawo.
23 Ggwe beera nange, totya; kubanga oyo anoonya obulamu bwange anoonya obulamu bwo: kubanga awali nze onoobanga mirembe.