Chapter 24
1 Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne beeraga mu maaso ga Katonda.
2 Yoswa n'agamba abantu bonna nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Bajjajjammwe baabeera mu biro eby'edda emitala w'Omugga, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli: ne baweereza bakatonda abalala.
3 Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne nnyongera ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka.
4 Ne mpa Isaaka Yakobo ne Esawu: ne mpa Esawu olusozi Seyiri, okululya; Yakobo n’abaana be ne baserengeta mu Misiri. Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo, oluvannyuma ne mbaggyamu.
5 Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo: oluvannyuma ne mbaggyamu.
6 Ne bajjajjammwe ne mbaggya mu Misiri: ne mutuuka ku nnyanja; n'Abamisiri ne bagoberera bajjajjammwe n'amagaali n'abeebagadde embalaasi ku Nnyanja Emmyufu.
7 Bwe baamukoowoola Mukama, n'assaawo ekizikiza wakati wammwe n'Abamisiri, n'abaleetako ennyanja, n’abasaanikira; n'amaaso gammwe gaalaba bye nnakola mu Misiri: nammwe ne mumala ennaku nnyingi mu ddungu.
8 Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani; ne balwana nammwe: ne mbawa mu mukono gwammwe, n'ensi yaabwe ne mugirya; ne mbazikiriza mu maaso gammwe:
9 Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n’ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira:
10 naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate: bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwe.
11 Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko: n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbawa mu mukono gwammwe.
12 Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, n'ebagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo.
13 Ne mbawa ensi gy'otaakolera mirimu, n'ebibuga bye mutaazimba, ne mubibeeramu; ensuku ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni ze mutaasimba ze mulyako.
14 Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa: era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama.
15 Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli: naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.
16 Abantu ne baddamu ne bagamba nti Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala;
17 kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati:
18 Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi: era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe.
19 Yoswa n'agamba abantu nti Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutuukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe.
20 Oba nga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abaggya, n'alyoka akyuka n'abakola obubi, n'abazikiriza, ng'amaze okubakola obulungi.
21 Abantu ne bagamba Yoswa nti Nedda, naye tunaaweerezanga Mukama.
22 Yoswa n'agamba abantu nti Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga. Ne boogera nti Tuli bajulirwa.
23 Kale kaakano muggyeewo bakatonda abaggya abali mu mmwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama Katonda wa Isiraeri.
24 Abantu ne bagamba Yoswa nti Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga, n’eddoboozi lye tunaaliwuliranga.
25 Bw'atyo Yoswa n'alagaana endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera etteeka n'ekiragiro mu Sekemu.
26 Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali ku kifo ekitukuvu ekya Mukama.
27 Yoswa n'agamba abantu bonna nti Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gye tuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye: kyelinaavanga libeera mujulirwa gye tuli, muleme okwegaana Katonda wammwe.
28 Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli muntu agende mu butaka bwe.
29 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'amaze emyaka kikumi mu kkumi.
30 Ne bamuziika mu nsalo ey'obutaka bwe mu Timunasusera, ekiri mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'olusozi Gaasi.
31 Abaisiraeri ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaasigalawo Yoswa ng'amaze okufa, era abaamanya emirimu gyonna egya Mukama, gye yakolera Isiraeri.
32 N'amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baggya mu Misiri ne bajja nago, ne bagaziika mu Sekemu, mu kitundu eky'ensi Yakobo kye yagula eri batabani ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ebitundu ebya ffeeza kikumi: ne gaba obusika obw'abaana ba Yusufu.
33 Eriyazaali omwana wa Alooni n'afa; ne bamuziika ku lusozi lwa Finekaasi omwana we, lwe yaweebwa mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu.