Yoswa

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24


Chapter 6

1 (Era Yeriko kyali kiggaliddwawo ddala olw'abaana ba Isiraeri tewaali afuluma, newakubadde ayingira.)
2 Mukama n'agamba Yoswa nti Laba, nkukiwadde mu mukono gwo Yeriko, ne kabaka waamu, n'abazira ab'amaanyi.
3 Era mulikyetooloola ekibuga, abalwanyi mwenna, nga mukyetooloola omulundi gumu. Bw'onookolanga bw'otyo ennaku omukaaga.
4 Ne bakabona omusanvu balisitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko: ne ku lunaku olw'omusanvu mulikyetooloola ekibuga emirundi musanvu; ne bakabona balifuuwa eŋŋombe.
5 Awo, bwe balifuuwa eŋŋombe ez'amayembe ag'endiga ensajja era bwe muliwulira eddoboozi ery'eŋŋombe, abantu bonna ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi ddene; bbugwe ow'ekibuga n'alyoka agwira ddala wansi, abantu ne balinnya buli muntu mu maaso ge.
6 Yoswa, omwana wa Nuni, n'ayita bakabona, n'abagamba nti Musitule essanduuko ey'endagaano, era bakabona musanvu basitule eŋŋombe musanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja bazikulembeze essanduuko ya Mukama:
7 Ne bagamba abantu nti Muyite, mwetooloole ekibuga, n'abalina eby'okulwanyisa bakulembere essanduuko ya Mukama.
8 Awo Yoswa bwe yamala okwogera n'abantu, bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja mu maaso ga Mukama ne bayita, ne bafuuwa eŋŋombe: essanduuko ey'endagaano ya Mukama ng'ebavaako ennyuma.
9 Abalina eby'okulwanyisa ne bakulembera bakabona abaafuuwa eŋŋombe, ab'ennyuma ne bagoberera essanduuko, nga bafuuwa eŋŋombe nga batambula.
10 Yoswa n'alagira abantu, ng'ayogera nti Temwogerera waggulu, n'eddoboozi lyammwe lireme okuwulirwa, n'ekigambo kyonna kireme okuva mu kamwa kammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira okwogerera waggulu; ne mulyoka mwogerera waggulu.
11 Bw'atyo yagyetoolooza ekibuga essanduuko ya Mukama, nga bakyetooloodde omulundi gumu ne bayingira mu lusiisira, ne basula mu lusiisira.
12 Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bakabona ne basitula essanduuko ya Mukama.
13 Ne bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko ya Mukama ne bagenda obutalinda, ne bafuuwa eŋŋombe: n'abalina eby'okulwanyisa nga babakulembedde: n'ab'ennyuma ne bagoberera essanduuko ya Mukama nga bafuuwa eŋŋombe nga batambula.
14 Ne ku lunaku olw'okubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira: bwe baakola bwe batyo ennaku mukaaga.
15 Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bakeera enkya mu matulutulu, ne beetooloola ekibuga emirundi musanvu bwe batyo: naye ku lunaku olwo beetooloola ekibuga emirundi musanvu.
16 Awo ku mulundi ogw'omusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti Muleekaane; kubanga Mukama abawadde ekibuga.
17 N'ekibuga kiriterekerwa Mukama, ekibuga ne byonna ebirimu: Lakabu omwenzi y'aliwona yekka, ye ne bonna abali awamu naye mu nnyumba, kubanga yakweka abatume, be twatuma.
18 Nammwe mwewalire ddala mu biterekeddwa Mukama, muleme okutwala ku biterekeddwa, nga mumaze okubitereka; bwe mutyo mwandifudde olusiisira lwa Isiraeri olukolimiddwa, era mwandirweraliikirizza;
19 Naye effeeza yonna n’ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby’ebyuma bye bitukuvu eri Mukama; birijja mu ggwanika lya Mukama.
20 Awo abantu ne baleekaana, ne bafuuwa eŋŋombe; awo, abantu bwe baawulira eddoboozi ery'eŋŋombe abantu ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, bbugwe n'agwira ddala wansi, abantu ne balinnya mu kibuga, buli muntu mu maaso ge, ne bamenya ekibuga.
21 Ne bazikiririza ddala ebyali mu kibuga byonna, abasajja n'abakazi, abato n'abakulu; n'ente, n'endiga, n'endogoyi, ne babitta n'ekitala.
22 Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaaketta ensi nti Mugende mu nnyumba ey'omwenzi, mumufulumye omukazi, ne by'alina byonna, nga bwe mwamulayirira.
23 Abavubuka abakessi ne bayingira, ne bamufulumya Lakabu, ne kitaawe, ne nnyina; ne baganda be, ne byonna by'alina, era n'ekika kye kyonna ne babafulumya; ne babateeka ebweru ku lusiisira lwa Isiraeri:
24 Ekibuga ne bakyokya omuliro, n’ebyalimu byonna: naye effeeza n'ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby'ebyuma byokka baabissa mu ggwanika ery'ennyumba ya Mukama.
25 Naye Lakabu omwenzi, n'ab'ennyumba ya kitaawe ne byonna bye yalina, Yoswa n'abawonya; n'abeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano; kubanga yakweka abatume, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko.
26 Yoswa n'abalayiza ekirayiro mu biro ebyo, ng'ayogera nti Akolimirwe mu maaso ga Mukama oyo aliyimirira n'azimba ekibuga kino Yeriko: mu kufiirwa omwana we omubereberye mw'alissizaawo emisingi gyakyo, era mu kufiirwa omwana we omuto alisimba enzigi zaakyo.
27 Bw'atyo Mukama yabeeranga ne Yoswa; n'ebigambo bye ne byatiikirira mu nsi yonna.