Chapter 8
1 Mukama n'agamba Yoswa nti Totyanga, so tokankananga: twala abantu bonna abalwanyi naawe, ogolokoke olinnye ku Ayi: laba, nkuwadde mu mukono gwo kabaka wa Ayi, n'abantu be, n'ekibuga kye, n'ensi ye;
2 era olikola Ayi ne kabaka waamu nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waamu: naye omunyago gwakyo n'ente zaakyo mulibyetwalira okuba ebinyage byammwe: muteegere ekibuga ennyuma waakyo.
3 Awo Yoswa n'agolokoka, n'abantu bonna abalwanyi, okulinnya ku Ayi; Yoswa n'alonda abantu obukumi busatu, abazira ab'amaanyi, n'abasindika ekiro.
4 N'abalagira ng'ayogera nti Laba, munaateegera ekibuga ennyuma w’e kibuga: temukiba wala nnyo ekibuga naye mwenna mweteeketeeke:
5 nange n'abantu bonna abali nange tunaasemberera ekibuga: awo, bwe banajja okutulumba, ng'olubereberye, ne tulyoka tudduka mu maaso gaabwe;
6 nabo banajja okutugoberera, okutuusa lwe tunaabasendasenda okuva mu kibuga ewala; kubanga banaayogera nti Badduse mu maaso gaffe ng'olubereberye; kyetunaava tudduka mu maaso gaabwe:
7 nammwe munaagolokoka we muteegedde, ne mukwata ekibuga: kubanga Mukama Katonda wammwe anaakiwaayo mu mukono gwammwe.
8 Awo, bwe munaamala okukwata ekibuga, ne mukyokya omuliro okugoberera ekigambo kya Mukama bwe munaakola: laba, nze mbalagidde.
9 Yoswa n'abasindika: ne bagenda we banaateegera, ne babeera wakati wa Neseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'e Ayi: naye Yoswa n'asula ekiro ekyo mu bantu.
10 Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka; n'akuŋŋaanya abantu, n'alinnya, ye n'abakadde ba Isiraeri, mu maaso g'abantu ne bagenda e Ayi.
11 Abantu bonna, abalwanyi abaali naye, ne balinnya ne basembera ne batuuka ekibuga we kiraba, ne basimba olusiisira ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Ayi: era waaliwo ekiwonvu wakati we ne Ayi.
12 N'atwala abantu ng'enkumi ttaano, n'abateekateeka okuteega wakati wa Beseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'ekibuga.
13 Bwe batyo bwe baateekateeka abantu, eggye lyonna eryali ku bukiika obwa kkono obw'ekibuga, era n'abateezi baabwe abaali ebugwanjuba obw'ekibuga; Yoswa n'agenda ekiro ekyo wakati mu kiwonvu.
14 Awo olwatuuka kabaka we Ayi bwe yakiraba, ne banguwa ne bagolokoka, enkya, n'abantu ab'omu kibuga ne bajja ku Baisiraeri okulwana, ye n'abantu be bonna, ku kiseera ekiragiddwa, mu maaso ga Alaba; naye teyamanya nga waliwo abamuteeze ennyuma w'ekibuga.
15 Yoswa n'Abaisiraeri bonna ne beefuula ng'abagobeddwa mu maaso gaabwe, ne baddukira mu kkubo ery'eddungu.
16 N'abantu bonna abaali mu kibuga ne bakuŋŋaanyizibwa okubagoberera: ne bagoba Yoswa, ne basendebwasendebwa okuva mu kibuga ewala.
17 Ne mutasigala muntu mu Ayi newakubadde mu Beseri, atazze kugoba Isiraeri: ne baleka ekibuga nga kigguliddwawo ne bagoba Isiraeri.
18 Mukama n'agamba Yoswa nti Galula omuwunda oguli mu mukono gwo ku Ayi; kubanga naakikuwa mu mukono gwo. Yoswa n'agalula omuwunda ogwali mu mukono gwe eri ekibuga.
19 N'abateezi ne bagolokoka mangu mu kifo kyabwe, ne baddukana mbiro bwe yamala okugolola omukono, ne bayingira mu kibuga, ne bakimenya; ne banguwa ne bookya ekibuga omuliro.
20 Ab'e Ayi bwe baalaba ennyuma waabwe, ne batunula, era, laba, omukka ogw'ekibuga nga gunyookera mu ggulu, ne bataba na maanyi ga kudduka okugenda eri newakubadde okudda eno: n'abantu abaali baddukidde mu ddungu ne babakyukirako abaabagoba.
21 Yoswa n'Abaisiraeri bonna bwe baalaba ng'abateezi bamenye ekibuga, n'omukka ogw'ekibuga nga gunyooka, awo ne bakyuka nate, ne batta ab'e Ayi.
22 N'abalala bannaabwe ne bava mu kibuga okubalumba; ne babeera wakati mu Baisiraeri, abalala eruuyi n'abalala eruuyi: ne babakuba, obutaganya muntu kusigalawo newakubadde okudduka.
23 Ne kabaka we Ayi ne bamukwata nga mulamu, ne bamuleeta eri Yoswa.
24 Awo Abaisiraeri bwe baamala okuttira ddala abaali mu Ayi bonna mu lusenyi, mu ddungu lye baabagoberamu, bonna ne bagwa n'obwogi bw'ekitala ne baggwaawo, Abaisiraeri bonna ne balyoka bakomawo e Ayi, ne bakikuba n'obwogi bw'ekitala.
25 Awo bonna abattibwa ku lunaku olwo, abasajja n'abakazi, baali kakumi mu enkumi bbiri, be bantu bonna abaali mu Ayi.
26 Kubanga Yoswa teyazza mukono gwe, gwe yagaluza omuwunda, okutuusa lwe yamala okubazikiririza ddala abaali mu Ayi bonna.
27 Wabula ente n'omunyago ogw'ekibuga ekyo Abaisiraeri ne babyetwalira, okuba ebinyage byabwe, ng'ekigambo kya Mukama kye yalagira Yoswa.
28 Yoswa n'ayokya Ayi bw'atyo, n'akifuula ekifunvu emirembe gyonna, era ekyazika, ne kaakano.
29 Ne kabaka we Ayi n'amuwanika ku muti okutuusa olweggulo: enjuba bwe yagwa Yoswa n'alagira, ne baggya omulambo gwe ku muti, ne bagusuula ku muzigo: ku wankaaki ow'ekibuga, ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ne kaakano.
30 Awo Yoswa n'alyoka azimbira Mukama ekyoto, Katonda wa Isiraeri, ku lusozi Ebali,
31 nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabalagira abaana ba Isiraeri; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, ekyoto eky'amayinja amalamba, omuntu g'atassaako kyuma kyonna: ne bakiweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ne bamuleetera ebiweebwayo olw'emirembe.
32 N'awandiika awo ku mayinja amateeka ga Musa, ge yawandiika, mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
33 N'Abaisiraeri bonna, n'abakadde baabwe, n'abaami, n’abalamuzi baabwe, ne bayimirira eruuyi n'eruuyi ez'essanduuko mu maaso ga bakabona Abaleevi, abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama, si nzaalwa bokka, naye ne bannaggwanga ekitundu kyabwe kumi olusozi Gerizimu gye lusimba, n’ekitundu kyabwe ekirala olusozi Ebali gye lusimba; nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira, basookenga okusabira omukisa abantu ba Isiraeri.
34 Oluvannyuma n'asoma ebigambo byonna eby'amateeka, omukisa n'okukolimira, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka.
35 Tewali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky'ataasoma mu maaso ag'ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri, n'abakazi, n’abaana abato, ne bannaggwanga abaatambulanga mu bo.