Chapter 11
1 Awo, Yabini kabaka w'e Kazoli bwe yakiwulira; n'atumira Yobabu kabaka w’e Madoni, ne kabaka w’e Simuloni, ne kabaka w’e Akusafu
2 ne bakabaka abaali ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, mu nsi ey'ensozi, ne mu Alaba ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez'e Doli ku luuyi olw'ebugwanjuba,
3 eri Omukanani ku buvanjuba ne ku bugwanjuba; n'eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi; n'eri Omuyebusi mu nsi ey'ensozi; n’eri Omukiivi Kerumooni gye lusimba mu nsi ey'e Mizupa.
4 Ne bajja, bo n'eggye lyabwe lyonna awamu nabo; abantu bangi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja bwe guli omungi, n'embalaasi n'amagaali bingi nnyo.
5 Awo, bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana; ne bajja ne basimba olusiisira awamu ku mazzi ag'e Meromu, okulwana ne Isiraeri.
6 Mukama n'agamba Yoswa nti Totya olw'abo: kubanga jjo nga kaakano ndibawaayo bonna nga battiddwa mu maaso ga Isiraeri: embalaasi zaabwe olizitema enteega, n'amagaali gaabwe oligookya omuliro.
7 Awo Yoswa n'ajja, n'abalwanyi bonna awamu naye, ne babalumba ku mazzi ag'e Meromu nga tebamanyi, ne babagwako.
8 Mukama n'abawaayo mu mukono gwa Isiraeri, ne babakuba, ne babagoba okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu Mizupe ku buvanjuba; ne babakuba obutasigazaako n'omu.
9 Yoswa n'abakola nga Mukama bwe yamulagidde: n'azitema enteega embalaasi zaabwe, n'ayokya omuliro amagaali gaabwe.
10 Yoswa n'adda ennyuma mu biro ebyo, n'amenya Kazoli, ne kabaka waamu n'amutta n'ekitala; kubanga Kazoli edda liri kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna.
11 N'emyoyo gyonna egyalimu ne bagitta n'obwogi bw'ekitala, ne bagizikiririza ddala: tewaasigalawo assa mukka: ne Kazoli n'akyokya omuliro.
12 N'ebibuga byonna ebya bakabaka bali, ne bakabaka baamu bonna, Yoswa n'abamenya n'abatta n'obwogi bw'ekitala, n'abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira.
13 Naye ebibuga ebyayimirira ku bifunvu byabyo, Abaisiraeri ne batayokyako n'ekimu, wabula Kazoli kyokka; ekyo Yoswa n'akyokya.
14 N'omunyago gwonna ogw'ebibuga ebyo n'ente, abaana ba Isiraeri ne babyetwalira okuba ebinyage byabwe; naye buli muntu ne bamutta n'obwogi bw'ekitala, ne babazikiriza; ne batasigazaako muntu assa mukka.
15 Nga Mukama bwe yalagira Musa omuweereza we, Musa bwe yalagira bw'atyo Yoswa: ne Yoswa bwe yakola bw'atyo; teyaleka kintu obutakikola mu byonna Mukama bye yalagira Musa.
16 Bw'atyo Yoswa bwe yatwala ensi eyo yonna ensi ey'ensozi, n'ey'obukiika obwa ddyo yonna, n'ensi yonna eya Goseni, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, n'ensi ey'ensozi eya Isiraeri n'ensi ey'ensenyi yaayo;
17 okuva ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri, okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w'olusozi Kerumooni: ne bakabaka baayo bonna n'abawamba, n'abafumita, n’abatta.
18 Yoswa n'alwawo ng'alwana ne bakabaka abo bonna.
19 Tewali kibuga ekyalagaana emirembe n'abaana ba Isiraeri, wabula Abakiivi abaali mu Gibyoni: baabimenya byonna mu kulwana.
20 Kubanga kyava eri Mukama okukakanyaza emitima gyabwe, okujja okulwana ne Isiraeri, alyoke abazikiririze ddala, baleme okulaba ekisa, naye abazikirize, nga Mukama bwe yalagira Musa.
21 Yoswa n'ajja mu biro ebyo, n'amalamu Abanaki mu nsi ey'ensozi, mu Kebbulooni, mu Debiri, mu Anabi, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Isiraeri: Yoswa n'abazikiririza ddala, wamu n'ebibuga byabwe.
22 Tewaali Banaki abaasigalawo mu nsi ey'abaana ba Isiraeri: wabula mu Gaza, mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigala abamu.
23 Yoswa bw'atyo bwe yalya ensi yonna; nga byonna Mukama bye yagamba Musa: Yoswa n'agiwa Isiraeri okuba obusika nga bwe baayawulibwa mu bika byabwe. N'ensi n'ewummula okulwana.