Yoswa

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24


Chapter 20

1 Mukama n'agamba Yoswa nti
2 Ogambe abaana ba Isiraeri nti Mweterekere ebibuga eby'okuddukirangamu, bye nnabagambako mu mukono gwa Musa:
3 omussi atta omuntu yenna nga tayagadde nga talabye alyoke abiddukirengamu: n'ebyo binaabanga ekiddukiro kyammwe eri omuwalanyi w'omusaayi.
4 Era anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, anaayimiriranga ku muzigo gwa wankaaki ow'ekibuga, anaabuuliranga ensonga ye mu matu g'abakadde ab'ekibuga ekyo; nabo banaamutwalanga mu kibuga gye bali, banaamuwanga ekifo, alyoke ababeeremu.
5 Era oba ng'omuwalanyi w'omusaayi anaamugobereranga, tebaawengayo mussi mu mukono gwe: kubanga yakuba muntu munne nga talabye, nga tamukyawanga.
6 Naye anaabeeranga mu kibuga omwo, okutuusa lw'anaayimiriranga mu maaso g'ekibiina okusalirwa omusango, okutuusa kabona asinga obukulu anaabeerangawo mu nnaku ezo lw'alifa: omussi n'alyoka addayo n'ajja mu kibuga kye, ne mu nnyumba ye, mu kibuga mwe yava okudduka.
7 Ne batereka Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba (ye Kebbulooni) mu nsi ey'ensozi eya Yuda.
8 N'emitala wa Yoludaani ku Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, baatereka Bezeri mu lukoola mu lusenyi mu kika kya Lewubeeni, ne Lamosi mu Gireyaadi mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani mu kika kya Manase.
9 Ebyo bye bibuga ebyalagirirwa abaana ba Isiraeri bonna, ne munnaggwanga abalimu, buli attanga omuntu yenna nga talabye addukire omwo, aleme okuttibwa n'omukono gw'omuwalanyi w'omusaayi, okutuusa lw'aliyimirira mu maaso g'ekibiina.