Chapter 19
1 N'akalulu ak'okubiri ne kagwira Simyoni kye kika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'obusika bwabwe bwali wakati mu busika obw'abaana ba Yuda.
2 Ne balya obusika bwabwe, Beeruseba oba Seba, ne Molada;
3 ne Kazalusuali, ne Bala; ne Ezemu;
4 ne Erutoladi, ne Besuli, ne Koluma;
5 ne Zikulagi, ne Besumalukabosi ne Kazalususa;
6 ne Besulebaosi, ne Salukeni; ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo.
7 Ayini, Limmoni, ne Eseri, ne Asani; ebibuga bina n'ebyalo byabyo:
8 n'ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, Laama eky'obukiika obwa ddyo. Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali:
9 Mu kitundu eky'abaana ba Yuda mwe mwava obusika obw'abaana ba Simyoni: kubanga omugabo ogw'abaana ba Yuda gwabalema okubuna: abaana ba Simyoni kyebaava balya obusika wakati mu busika bwabwe:
10 N'akalulu ak'okusatu ne kajja ku baana ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'ensalo ey'obusika bwabwe yatuuka ku Salidi:
11 n'ensalo yaabwe n'erinnya ku luuyi olw'ebugwanjuba, n'etuuka ku Malala, n'etuuka ku Dabbesesi; n'etuuka ku mugga Yokuneamu we kiraba;
12 n'eva ku Salidi n'ekyamira ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey'e Kisulosutaboli; n'ebuna ku Daberasi, n'erinnya ku Yafiya;
13 n'eva eyo n'eyita ku luuyi olw'ebavanjuba n'etuuka ku Gasukeferi, ku Esukazini; n'ekoma ku Limmoni ekituuka ku Nea.
14 ensalo ne yeetooloola ku luuyi olw'obukiika obwa kkono n'etuuka ku Kannasoni n'enkomerero zaayo zaali ku kiwonvu Ifutakeri;
15 ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu: ebibuga kkumi na bibiri n'ebyalo byabyo.
16 Obwo bwe busika obw'abaana ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
17 Akalulu ak'okuna ne kakwata Isakaali, be baana ba Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali.
18 N'ensalo yaabwe n'etuuka ku Yezuleeri, ne Kesulosi, ne Sunemu;
19 ne Kafalaimu, ne Sioni, ne Anakalasi;
20 ne Labbisi, ne Kisioni, ne Ebezi:
21 ne Lemesi, ne Engannimu, ne Enkadda, ne Besupazzezi;
22 ensalo n'etuuka ku Taboli, ne Sakazuma, ne Besusemesi; n'enkomerero z'ensalo yaabwe zaali ku Yoludaani: ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo.
23 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Isakaali: ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.
24 N'akalulu ak'okutaano ne kakwata ekika eky'abaana ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali.
25 N'ensalo yaabwe yali Kerukasi, ne Kali, ne Beteni, ne Akusafu;
26 ne Alammereki, ne Amadi, ne Misali; n'etuuka ku Kalumeeri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne ku Sikolulibunasi;
27 n'ekyamira ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku Besudagoni, n'etuuka ku Zebbulooni, ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri; n'ebuna ku Kabuli ku mukono ogwa kkono,
28 ne Ebuloni, ne Lekobu, ne Kammoni, ne Kana, okutuuka ku Sidoni ekinene;
29 ensalo n'ekyamira ku Laama, ne ku kibuga ekiriko ekigo Tuulo; ensalo n'ekyamira ku Kosa; n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu:
30 era ne Uma, ne Afiki, ne Lekobu: ebibuga amakumi abiri mu bibiri n'ebyalo byabyo:
31 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
32 Akalulu ak'omukaaga ne kagwira abaana ba Nafataali, be baana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali.
33 N'ensalo yaabwe yava ku Kerefu, okuva ku mwera oguli mu Zaanannimu, ne Adaminekebu, ne Yabuneeri, okutuuka ku Lakkumu; n'enkomerero zaayo zaali ku Yoludaani:
34 ensalo n’ekyamira ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku Azunosutaboli, n’eva eyo n'ebuna ku Kukkoki; n'etuuka ku Zebbulooni ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'etuuka ku Aseri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne ku Yuda ku Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
35 N'ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, Zeri, ne Kammasi, Lakkasi, ne Kinneresi;
36 ne Adama, ne Laama, ne Kazoli;
37 ne Kesedi, ne Ederei, ne Enkazoli;
38 ne Ironi, ne Migudaleri, Kolemu, ne Besuanasi, ne Besusemesi; ebibuga kkumi na mwenda n'ebyalo byabyo.
39 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.
40 Akalulu ak'omusanvu ne kagwira ekika ky'abaana ba Daani ng'enda zaabwe bwe zaali.
41 N'ensalo ey'obusika bwabwe yali Zola, ne Esutaoli, ne Irusemesi;
42 ne Saalabbini, ne Ayalooni, ne Isula;
43 ne Eroni, ne Timuna, ne Ekuloni;
44 ne Eruteke, ne Gibbesoni, ne Baalasi;
45 ne Yekudi, ne Beneberaki, ne Gasulimmoni;
46 ne Meyalakoni, ne Lakoni, n'ensalo Yafo gye kiraba.
47 Ensalo ey'abaana ba Ddaani n'ebuna ensi etali yaabwe: kubanga abaana ba Ddaani baalinnya ne balwanyisa Lesemu, ne bakimenya, ne bakitta n'ekitala ne bakirya, ne bakibeeramu, ne bakituuma Lesemu Ddaani, lye linnya lya Ddaani jjajjaabwe.
48 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
49 Bwe batyo bwe baamalira ddala okugaba ensi okuba obusika mu nsalo zaayo; n'abaana ba Isiraeri ne bawa Yoswa omwana wa Nuni obusika wakati waabwe:
50 nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga kye yasaba, ye Timunasusera mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'azimba ekibuga n'abeera omwo.
51 Obwo bwe busika, Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuni n'emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baagabanira n'obululu okuba obusika mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw'eweema gye baakuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabana ensi.