Chapter 1
1 Awo olwatuuka Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa, omwana wa Nuni, omuweereza wa Musa, ng'ayogera nti
2 Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe, n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri.
3 Buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe, nkibawadde mmwe, nga bwe nnagamba Musa.
4 Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, gwe mugga Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba ensalo yammwe.
5 Tewalibeera muntu yenna aliyinza okuyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo: nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga.
6 Ddamu amaanyi guma omwoyo: kubanga ggwe olibasikiza abantu bano ensi eno gye nnalayirira bajja baabwe okugibawa.
7 Naye mala okuddamu amaanyi n'okuguma ennyo omwoyo, okwekuumanga okukola ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange ge yakulagira: tokyamanga okugaleka ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.
8 Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoozangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebiwandiikiddwamu: kubanga bw'onooterezanga bw'otyo ekkubo lyo, era bw'onooweebwanga omukisa bw'otyo.
9 Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.
10 Yoswa n'alyoka alagira abaami b'abantu, ng'ayogera nti
11 Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu, nga mwogera nti Mweteekereteekere emmere; kubanga ennaku essatu nga tezinnayita mugenda, okusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okugirya.
12 Era Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase Yoswa n'abagamba, ng'ayogera nti
13 Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabalagira, ng'ayogera nti Mukama Katonda wammwe abawa ekiwummulo, era alibawa ensi eno.
14 Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balituula mu nsi Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye mmwe mulisomoka mu maaso ga baganda bammwe nga mulina eby'okulwanyisa, abazira mwenna ab'amaanyi, mulibabeera;
15 okutuusa Mukama lw'alimala okubawa baganda bammwe ekiwummulo, nga bw'awadde mmwe, era nabo lwe balimala okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa bo: ne mulyoka muddayo mu nsi gye mwalya, mugirye, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
16 Ne bamuddamu Yoswa, nga boogera nti Byonna by'otulagidde tulibikola, era buli gy'onootutumanga tunaagendanga.
17 Nga bwe twawuliranga Musa mu bigambo byonna, naawe tunaakuwuliranga bwe tutyo: kyokka Mukama Katonda wo abe naawe, nga bwe yali ne Musa.
18 Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga: naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.