Chapter 10
1 Awo, Adonizedeki kabaka w’e Yerusaalemi bwe yawulira Yoswa bwe yamenya Ayi n'akizikiririza ddala; nti, bwe yakola Yeriko ne kabaka waamu, bw'atyo bwe yakola Ayi ne kabaka waamu; era ng'ab'omu Gibyoni baalagaana emirembe n'Abaisiraeri, era nga bali mu bo;
2 ne balyoka batya nnyo, kubanga Gibyoni kyali kibuga kinene, ng'ebibuga bya bakabaka bwe byali, era kubanga kyali kisinga Ayi obunene, n'abantu baayo bonna bazira:
3 Adonizedeki, kabaka w'e Yerusaalemi, kyeyava atuma eri Kokamu, kabaka w'e Kebbulooni, n'eri Piramu, kabaka w'e Yalamusi; n’eri, Yafiya, kabaka w'e Lakisi, n'eri Debiri, kabaka w'e Eguloni, ng'ayogera nti
4 Mulinnye gye ndi mumbeere, tukube Gibyoni: kubanga baalagaana emirembe ne Yoswa n'abaana ba Isiraeri.
5 Awo bakabaka abataano ab'Abamoli, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka w'e Kebbulooni, kabaka w'e Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, kabaka w’e Eguloni, ne bakuŋŋaanira wamu, ne balinnya, bo n'eggye lyabwe lyonna, ne basimba olusiisira ku Gibyoni, ne bakirwanyisa.
6 N'ab'e Gibyoni ne batumira Yoswa ku lusiisira ku Girugaali nga boogera nti Toddiriza mukono gwo ku baddu bo; olinnye gye tuli mangu, otuwonye, otubeere: kubanga bakabaka bonna ab'Abamoli abatuula mu nsi ey'ensozi bakuŋŋaanidde ku ffe.
7 Awo Yoswa n'ava mu Girugaali n'alinnya, ye n'abalwanyi bonna awamu naye, n'abazira bonna ab'amaanyi.
8 Mukama n'agamba Yoswa nti Tobatya, kubanga mbakuwadde mu mikono gyo: tewaabe muntu mu bo anaayimirira mumaaso go.
9 Awo Yoswa n'abajjirira mangu nga tebamanyi; kubanga yava Girugaali n'alinnya ekiro n'akeesa obudde.
10 Mukama n'abaswaza mu maaso ga Isiraeri, n'abattira ddala bangi mu Gibyoni, n'abagoba mu kkubo eririnnya e Besukolooni, n'abakuba okubatuusa ku Azeka ne ku Makkeda.
11 Awo, bwe badduka mu maaso ga Isiraeri, ne baserengeta e Besukolooni, Mukama n'asuula amayinja amanene nga gava mu ggulu n'abakuba mu Azeka; ne bafa: abaafa amayinja ag'omuzira ne basinga bali abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala.
12 Awo Yoswa n'agamba Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g'abaana ba Isiraeri; n'ayogera mu maaso ga Isiraeri nti Enjuba, yimirira ggwe ku Gibyoni; Naawe, omwezi, mu kiwonvu Ayalooni.
13 Enjuba n'eyimirira, omwezi ne gulinda, Okutuusa eggwanga bwe lyamala okuwalana eggwanga ku balabe baabwe. Ekyo tekyawandiikibwa mu kitabo kya Yasali? Enjuba n'erinda wakati mu ggulu, n'eteyanguwa kugwa ng'olunaku olulamba.
14 So tewali lunaku olwenkana olwo oba olwalusooka oba oluvannyuma lwalwo Mukama okuwulira eddoboozi ly'omuntu: kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri.
15 Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali.
16 Ne bakabaka abo abataano ne badduka, ne beekweka mu mpuku mu Makkeda.
17 Ne babuulira Yoswa nti Bakabaka abataano tubalabye, nga beekwese mu mpuku mu Makkeda.
18 Yoswa n'ayogera nti Muyiringisirize amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, mugiteekeko abantu babakuume;
19 naye mmwe temulinda; mugoberere abalabe bammwe, mubakube ab'ennyuma mu bo; temubaganya knyingira mu bibuga byabwe; kubanga Mukama Katonda wammwe ababawadde mu mukono gwammwe.
20 Awo Yoswa n'abaana ba Isiraeri bwe baamalira ddala okutta abantu abangi ennyo, ne baggweerawo ddala, n'abaasigalawo mu bo ne bayingira mu bibuga ebiriko ebigo,
21 abantu bonna ne balyoka bakomawo mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda n'emirembe: tewaali muntu eyagezaako okwogera okuvuma n'omu ku baana ba Isiraeri.
22 Yoswa n'alyoka ayogera nti Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano mu mpuku.
23 Ne bakola bwe batyo, ne baggyamu bakabaka bali abataano mu mpuku ne babamuleetera, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka w’e Kebbulooni, kabaka w’e Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, kabaka w'e Eguloni.
24 Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n'ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n'agamba abaami ab'abalwanyi abaagenda naye nti Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano. Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe.
25 Yoswa n'abagamba nti Temutya, so temukankana, muddeemu amaanyi, mugume emyoyo: kubanga Mukama bw'alibakola bw'atyo abalabe bammwe bonna be mulirwana nabo.
26 Oluvannyuma Yoswa n'abafumita, n'abatta, n'abawanika ku miti etaano: ne bawanikibwa ku miti okutuusa olweggulo.
27 Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne babaggya ku miti, ne babasuula mu mpuku mwe baali beekwese, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, ne kaakano.
28 Yoswa n'amenya Makkeda ku lunaku olwo; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu; n'abazikiririza ddala bo n'emyoyo gyonna egyalimu, n'atasigazaako n'omu: n'akola kabaka w’e Makkeda nga bwe yakola kabaka w’e Yeriko.
29 Yoswa n'ava mu Makkeda; n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Libuna, ne balwana n'ab'e Libuna.
30 Mukama nakyo n'akiwaayo, ne kabaka waamu, mu mukono gwa Isiraeri; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'atasigazaamu n'omu; n'akola kabaka waamu nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko.
31 Yoswa n'ava mu Libuna n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Lakisi, n'akisimbako olusiisira, n'akirwanyisa.
32 Mukama n'akiwaayo Lakisi mu mukono gwa Isiraeri; n'akimenya ku lunaku olwokubiri, n'akitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu, nga byonna bye yakola Libuna.
33 Kolamu kabaka w'e Gezeri n'alyoka alinnya okuyamba Lakisi; Yoswa n'amukuba ye n'abantu be, n'atasigazaako n'omu.
34 Yoswa n'ava mu Lakisi, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Eguloni; ne bakisimbako olusiisira, ne bakirwanyisa;
35 ne bakimenya ku lunaku olwo, ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'agizikiririza ddala ku lunaku olwo; nga byonna bye yakola Lakisi.
36 Yoswa n'ava mu Eguloni, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Kebbulooni; ne bakirwanyisa:
37 ne bakimenya ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna, n'emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu, nga byonna bye yakola Eguloni; naye n'akizikiririza ddala, n'emyoyo gyonna egyalimu.
38 Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Debiri; n'akirwanyisa:
39 n'akimenya ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna; ne babitta n'obwogi bw'ekitala, ne bazikiririza ddala emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu: nga bwe yakola Kebbulooni, bwe yakola bw'atyo Debiri, ne kabaka waamu; era nga bwe yakola Libuna, ne kabaka waamu.
40 Bw'atyo Yoswa bwe yakuba ensi yonna, ensi ey'ensozi; n'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ensenyi, n'ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna; n'atasigazaako n'omu: naye n'azikiririza ddala bonna abassa omukka, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yalagira.
41 Yoswa n'abakuba okuva ku Kadesubanea okutuuka ku Gaza; n'ensi yonna eya Goseni, okutuuka ku Gibyoni.
42 Ne bakabaka abo bonna n'ensi yaabwe Yoswa n'abamenya mulundi gumu; kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, yalwanirira Isiraeri.
43 Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali.