1 Abakkolinso

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16


Essuula 8

1 Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga tulina fenna okutegeera. Okutegeera kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba.
2 Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, nga tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera;
3 naye omuntu bw'ayagala Katonda, oyo ategeerwa ye.
4 Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi ng'ekifaananyi si kintu mu nsi, era nga tewali Katonda omulala wabula omu.
5 Kuba newakubadde nga waliwo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo bakatonda abangi n'abaami abangi;
6 naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe:
7 Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ng'ekiweereddwa eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubeera n'empitambi.
8 Naye ekyokulya tekitusiimisa eri Katonda: era bwe tutalya tetuweebuuka: era bwe tulya tetweyongerako.
9 Naye mwekuumenga mpozzi obuyinza bwammwe obwo bulemenga okuba enkonge eri abanafu.
10 Kubanga omuntu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi; omwoyo gw'oyo, bw'aba nga munafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi?
11 Kubanga omunafu abula olw'okutegeera kwo, ow'oluganda Kristo gwe yafiirira.
12 Era bwe kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo.
13 Kale, oba ng'ekyokulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.