Essuula 12
1 Kale nno, ab'oluganda, eby'ebirabo eby'omwoyo ssaagala mmwe obutabitegeera.
2 Mumanyi bwe mwali ab'amawanga nga mwakyamizibwanga eri ebifaananyi ebitoogera, nga mukyamizibwa mu ngeri yonna.
3 Kyenva mbategeeza nga siwali muntu bw'ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti Yesu akolimiddwa; so siwali muntu ayinza okwogera nti Yesu ye Mukama waffe, wabula mu Mwoyo Omutukuvu.
4 Naye waliwo enjawulo z'ebirabo, naye Omwoyo ali omu.
5 Era waliwo enjawulo z'okuweereza, era Mukama waffe ali omu.
6 Era waliwo enjawulo z'okukola, naye Katonda ali omu, akola byonna mu bonna.
7 Naye buli muntu aweebwa okulagibwa kw'Omwoyo olw'okugasa.
8 Kubanga omulala Omwoyo amuweesa ekigambo eky'amagezi; n'omulala aweebwa ekigambo eky'okutegeeranga, ku bw'Omwoyo oyo:
9 omulala okukkiriza, ku bw'Omwoyo oyo; n'omulala ebirabo eby'okuwonyanga, ku bw'Omwoyo omu;
10 n’omulala okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo: omulala engeri z'ennimi; n'omulala okuvvuunuzanga ennimi:
11 naye ebyo byonna Omwoyo oyo omu ye abikola, ng'agabira buli muntu kinnoomu nga ye bw'ayagala.
12 Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne guba n'ebitundu ebingi n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo.
13 Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.
14 Kubanga n'omubiri si kitundu kimu, naye bingi.
15 Ekigere bwe kyogera nti Kubanga siri mukono, siri wa ku mubiri; olwekyo tekibeera ekitali kya ku mubiri.
16 Era okutu bwe kwogera nti Kubanga siri liiso, siri wa ku mubiri; olwekyo tekubeera okutali kwa ku mubiri.
17 Omubiri gwonna singa liiso, okuwulira kwandibadde wa? Gwonna singa kuwulira, okuwunyiriza kwandibadde wa?
18 Naye kaakano Katonda yassaawo ebitundu buli kinnakimu mu mubiri, nga bwe yayagala.
19 Era byonna singa kyali kitundu kimu, omubiri gwandibadde wa?
20 Naye kaakano ebitundu biri bingi, naye omubiri gumu.
21 N'eriiso teriyinza kugamba mukono nti Ggwe sikwetaaga: oba nate omutwe okugamba ebigere nti Mmwe sibeetaaga.
22 Naye, ekisinga ennyo, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubeera ebinafu byetaagibwa:
23 n'ebyo eby'oku mubiri bye tulowooza obutaba na kitiibwa nnyo, bye twambaza ekitiibwa ekisinga obungi: n'ebitundu byaffe ebitali birungi bye bisinga okubeera n'obulungi;
24 naye ebirungi byaffe tebyetaaga: naye Katonda yagattira ddala wamu omubiri, ekitundu ekyabulako ng'akiwa ekitiibwa ekisinga obungi;
25 walemenga okubeera okwawula mu mubiri; naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka.
26 Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonerabanera wamu nakyo; oba ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo.
27 Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu.
28 Era Katonda yassaawo mu kkanisa abalala, okusooka batume, ab'okubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, nate eby'amagero, nate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi.
29 Bonna batume? bonna bannabbi? bonna bayigiriza? bonna bakola eby'amagero?
30 bonna balina ebirabo eby'okuwonyanga? bonna boogera ennimi? bonna baavvuunula?
31 Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era mbalaga ekkubo erisinga ennyo obulungi.