Essuula 10
1 Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w'ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja;
2 era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja;
3 era bonna ne balyanga emmere emu ey'omwoyo; era bonna ne banywanga ekyokunywa ekimu eky'omwoyo:
4 kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo lwali Kristo.
5 Naye bangi ku bo Katonda teyabasiima: kubanga baazikiririzibwa mu ddungu.
6 Naye ebyo byali byakulabirako gye tuli, tulemenga okwegomba ebibi, era nga bo bwe beegomba.
7 So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo: nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.
8 Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bagwa ku lunaku olumu obukumi bubiri mu enkumi ssatu.
9 Era tetukemanga Mukama waffe, ng'abamu ku bo bwe baakema, emisota egyo ne gibatta.
10 Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza.
11 Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe.
12 Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa.
13 Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.
14 Kale, baganda bange, muddukenga okusinza ebifaananyi.
15 Mbagamba ng'abalina amagezi; mulowooze kye njogera.
16 Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu omubiri gwa Kristo?
17 kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu.
18 Mulabe Isiraeri ow'omubiri: abalya ssaddaaka tebassa kimu na kyoto?
19 Kale njogera ki? ekiweebwa eri ekifaananyi nga kintu, oba ekifaananyi nga kintu?
20 Naye njogera ng'ab'amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so si eri Katonda: nange ssaagala mmwe kubeeranga abasseekimu ne balubaale.
21 Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya balubaale: temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya balubaale.
22 Oba Mukama waffe tumukwasa obuggya? ffe tumusinga amaanyi?
23 Byonna birungi; naye ebisaana si byonna. Byonna birungi, naye ebizimba si byonna.
24 Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne.
25 Buli kye batundanga mu katale, mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo;
26 kubanga ensi ya Mukama waffe, n'okujjula kwayo.
27 Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo.
28 Naye omuntu bw'abagambanga nti Kino kyaweebwa okubeera ssaddaaka, temukiryanga ku lw'oyo abuulidde, n'olw'omwoyo:
29 bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala?
30 Nze bwe ndya n'okwebaza, kiki ekinvumya olw'ekyo kye nneebaza?
31 Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda.
32 Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda:
33 era nga nange bwe sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi; balyoke balokoke.