Essuula 7
1 Naye ku ebyo bye mwampandiikira; kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi.
2 Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne musajja we ye.
3 Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n'omukazi asasulenga bw'atyo omusajja.
4 Omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we: era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we.
5 Temumaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe.
6 Naye ebyo mbyogera nga nzikiriza bukkiriza, so siteeka tteeka.
7 Naye nandyagadde abantu bonna okubeeranga nga nze. Naye buli muntu alina ekirabo kye ye, ekiva eri Katonda, omulala bw'ati, n'omulala bw'ati.
8 Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze.
9 Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbiriganwenga: kubanga kye kirungi okufumbiriganwanga okusinga okwakanga.
10 Naye abaamala okufuumbirwaganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, omukazi obutanobanga ku musajja we
11 (naye okunoba bw'anobanga, abeerenga awo obutafumbirwanga, oba atabaganenga ne musajja we); era n'omusajja obutalekangayo mukazi we.
12 Naye abalala mbagamba nze, si Mukama waffe: w'oluganda yenna bw'abanga n'onukazi atakkiriza, omukazi bw'atabagananga naye okubeera naye, tamulekangayo.
13 N'omukazi bw'abeeranga n'omusajja atakkiriza; naye bw'atabagananga naye okubeera naye, tanobanga ku musajja we.
14 Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na wa luganda: singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.
15 Naye atakkiriza bw'ayawukananga, ayawukane: ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo: naye Katonda yatuyitira mirembe.
16 Kubanga, ggwe omukazi; omanyi otya nga tolirokola musajja wo? oba, ggwe musajja, omanyi otya nga tolirokola mukazi wo?
17 Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe yamugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga bw'atyo. Era bwe ndagira bwe ntyo mu kkanisa zonna.
18 Omuntu yenna yayitibwa nga mukomole? teyeggyangako bukomole bwe. Omuntu yenna yayitibwa nga si mukomole? Takomolebwanga.
19 Okukomolwa si kintu n'obutakomolwa si kintu wabula okukwatanga ebiragiro bya Katonda.
20 Buli muntu abeerenga mu kuyitibwa kwe yayitirwamu.
21 Wayitibwa ng'oli muddu? tokyeraliikiriranga: naye okuyinza bw'oyinzaga okuweebwa eddembe, waakiri beerenga nalyo.
22 Kubanga mu Mukama waffe eyayitibwa nga muddu, aweebwa Mukama waffe eddembe: bw'atyo eyayitibwa nga wa ddembe ye muddu wa Kristo.
23 Mwagulibwa na muwendo; temufuukanga baddu ba bantu.
24 Ab'oluganda, okuyitibwa buli muntu kwe yayitirwamu, abeerenga mu okwo wamu ne Katanda.
25 Naye ku by'obutafumbiriganwa sirina kiragiro kya Mukama waffe: naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa.
26 Kale ndowooza kino okubeera ekirungi olw'okubonaabona okwa kaakano, nga kirungi omuntu okubeera nga bw'ali.
27 Wasibibwa n'omukazi? tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? tonoonyanga mukazi.
28 Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'okubonaabona mu mubiri: nange mbasaasira.
29 Naye kino kye njogera, ab'oluganda, nti Ebiro biyimpawadde, okutanula kaakano abalina abakazi babe ng'abatalina:
30 era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n’abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina;
31 n'abo abakoza eby'omu nsi babe ng'abatabikoza bubi: kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo.
32 Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe:
33 naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we.
34 Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga musajja we.
35 Njogedde ekyo olw'okubagasa mmwe bennyini; si lwakuba nga kyambika, wabula olw'obulungi era mulyoke muweerezenga Mukama waffe obutategananga.
36 Naye omuntu bw'alowoozanga nga takola bulungi muwala we, oba nga ayitiridde obukulu, era oba nga kigwana okubeera bwe kityo, akolenga nga bw'ayagala; tayonoona; bafumbiriganwe.
37 Naye oyo anywera mu mutima gwe, nga tawalirizibwa, naye ng'ayinza okutuukiriza bw'ayagala ye, era nga yamalirira kino mu mutima gwe okukuumanga muwala we, alikola bulungi.
38 Kale afumbiza muwala we akola bulungi; era n'oyo atalifumbiza ye alisinga okukola obulungi.
39 Omukazi asibibwa musajja we ng'akyali mulamu; naye musajja we bw'aba nga yeebase, nga wa busa afumbirwenga gw'ayagala; kyokka mu Mukama waffe.
40 Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali nga nze bwe ndowooza: era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda.