Essuula 2
1 Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda,
2 Kubanga nnamalirira obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomererwa.
3 Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi.
4 N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeeza kw'Omwoyo n'amaanyi:
5 okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda.
6 Naye amagezi tugoogera mu abo abatuukirira: naye amagezi agatali ga mu mirembe gino, era agatali ga bakulu ab'omu mirembe gino, abaggwaawo:
7 naye twogera amagezi ga Katonda mu kyama, gali agakisibwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe:
8 abakulu bonna ab'omu mirembe gino ge batategeeranga n'omu: kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama wa kitiibwa:
9 naye nga bwe kyawandiikibwa nti Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.
10 Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda.
11 Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda.
12 Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa.
13 N'okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g'abantu bye gayigiriza, wabula Omwoyo by'ayigiriza; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo.
14 Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy'ali; era tayinza kabitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo.
15 Naye omuntu ow'omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takeberwa muntu yenna.
16 Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize? Naye ffe tulina okulowooza kwa Kristo.