Essuula 14
1 Mugobererenga okwagala; naye mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, naye ekisinga mubuulirenga.
2 Kubanga ayogera olulimi tayogera eri bantu, wabula Katonda; kubanga siwali awulira; naye mu mwoyo ayogera byama.
3 Naye abuulira ayogera eri abantu ebizimba, n'ebisanyusa, n'ebigumya.
4 Ayogera olulimi yeezimba yekka; naye abuulira azimba ekkanisa.
5 Kale mbaagala mwenna mwogerenga ennimi, naye waakiri mubuulirenga: era abuulira ye asinga obukulu ayogera ennimi, wabula ng'ategeeza, ekkanisa eryoke ezimbibwe.
6 Naye kaakano, ab'oluganda, oba nga ndijja gye muli nga njogera ennimi, ndibagasa ntya; bwe ssiryogera nammwe oba mu kubikkula, oba mu kutegeera, oba mu kubuulira, oba mu kuyigiriza?
7 Era n'ebitali biramu, ebireeta, eddoboozi; oba ndere, oba nnanga, bwe bitaleeta kwawula mu kuvuga, kitegeerwa kitya ekifuuyibwa oba ekikubibwa?
8 Kubanga n'akagombe bwe kavuga eddoboozi eritategeerekeka, ani alyeteekateeka okulwana?
9 Bwe mutyo nammwe bwe mutaaleetenga mu lulimi eddoboozi eriwulikika amangu, ekyogerwa kinaategeerwanga kitya? kubanga mulyogerera mu bbanga.
10 Mpozzi waliwo mu nsi engeri z'ennimi bwe ziti, so siwali ngeri eterina makulu.
11 Kale bwe ssimanya makulu ga ddoboozi, ndibeera ng'ajoboja eri oyo ayogera, n'oyo ayogera alibeera ng'ajoboja eri nze.
12 Bwe mutyo nammwe, kubanga mwegomba eby'omwoyo, mwagalenga okweyongera olw'okuzimba ekkanisa.
13 Kale ayogera olulimi asabenga ategeezenga.
14 Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo gwange gusaba, naye amagezi gange tegabala bibala.
15 Kale kiki? nnaasabyanga omwoyo, era nnaasabyanga n'amagezi, nnaayimbyanga mwoyo, era nnaayimbyanga n'amagezi.
16 Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, abeera mu kifo ky'oyo atamanyi anaddangamu atya nti Amiina olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde?
17 Kubanga ggwe weebaza bulungi, naye omulala tazimbibwa.
18 Nneebaza Katonda, mbasinga mwenna okwoera ennimi;
19 naye mu kkanisa njagala okwogeranga ebigambo bitaano n'amagezi gange, ndyoke njigirizenga n'abalala, okusinga ebigambo akakumi mu lulimi obulimi.
20 Ab'oluganda, temubanga baana bato mu magezi: naye mu ttima mubeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu.
21 Kyawandiikibwa mu mateeka nti Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannaggwanga; era newakubadde bwe kityo tebalimpulira, bw'ayogera Mukama.
22 Ennimi kyeziva zibeera akabonero, si eri abo abakkiriza, wabula eri abatakkiriza: naye okubuulira tekubeera kabonero eri abatakkiriza wabula eri abakkiriza.
23 Kale ekkanisa yonna bw'eba ng'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne boogera ennimi, ne wayingira abatamanyi oba abatakkiriza, tebaligamba nti mulaluse?
24 Naye bona bwe babuulira, ne wayingira atakkiriza oba atamanyi, anenyezebwa bonna, asalirwa bonna omusango;
25 ebyama eby'omu mutima gwe birabisibwa; era bw'atyo alivuunama amaaso, n'asinza Katonda, ng'ayogera nga Katonda ali mu mmwe ddala.
26 Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonna bikolebwenga olw'okuzimba.
27 Omuntu bw'ayogeranga olulimi, boogerenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu mpalo, era omu avvuunulenga:
28 naye oba nga tewali avvuunula, asirikenga mu kkanisa; ayogererenga mu mmeeme ye era ne Katonda.
29 Ne bannabbi boogerenga babiri oba basatu, n'abalala baawulenga.
30 Naye omulala atudde bw'abikkulirwanga, eyasoose asirikenga.
31 Kubanga mwenna muyinza okubuuliranga kinnoomu, bonna bayigenga, era bonna basanyusibwenga;
32 n'emyoyo gya bannabbi gifugibwa bannabbi;
33 kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe; nga mu kkanisa zonna ez'abatukuvu.
34 Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebalagirwa kwogera; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe googera.
35 Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa.
36 Oba gye muli ekigambo kya Katonda gye kyava? oba kyatuuka eri mmwe mwekka?
37 Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe.
38 Naye omuntu yenna bw'atategeera, aleme okutegeera.
39 Kale baganda bange, mwegombenga okubuuliranga, so temuziyizanga kwogeranga nnimi.
40 Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi.