Essuula 3
1 Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo.
2 Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza: naye era ne kaakano temunnagiyinza;
3 kubanga mukyali ba mubiri: kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu?
4 Kubanga omuntu bw'ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; n'omulala nti Nze ndi wa Apolo; nga temuli bantu buntu?
5 Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa.
6 Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza.
7 Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza.
8 Naye asiga n'afukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye ye ng'omulimu gwe ye bwe guliba.
9 Kubanga Katonda tuli bakozi banne: muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
10 Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omukoza w'abazimbi ow'amagezi n'asima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbako.
11 Kubanga tewali muntu ayinza kusima musingi mulala wabula ogwo ogwasimibwa, ye Yesu Kristo.
12 Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro;
13 omulimu ogwa buli muntu gulirabisibwa: kubanga olunaku luli luligwolesa, kubanga gulibikkulirwa mu muliro; n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana.
14 Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulibeerawo, aliweebwa empeera.
15 Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro.
16 Temumaayi nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe?
17 Omuntu yenna bw'azikirizanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe:
18 Omuntu yenna teyeerimbanga; Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi.
19 Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa ati Akwasa abagezi enkwe zaabwe:
20 era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu.
21 Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe;
22 oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe;
23 nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda.