Essuula 16
1 Naye okukuŋŋaanyizanga ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo.
2 Ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe aterekenga ewuwe nga bw'ayambiddwa, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja.
3 Era bwe ndituuka be mulisiima mu bbaluwa abo be ndituma okutwala ekisa kyammwe mu Yerusaalemi:
4 era oba nga kirinsaanira nange okugenda, baligenda nange.
5 Naye ndijja gye muli bwe ndiba nga mmaze okuyita mu Makedoni; kubanga ndiyita mu Makedoni:
6 naye mpozzi ndituula gye muli katono, oba n'okumala ndimalayo biro bya ttoggo byokka, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna.
7 Kubanga ssaagala kubalaba kaakano nga mpita buyisi: kubanga nsuubira okulwayo katono gye muli, Mukama waffe bw'alikkiriza.
8 Naye ndirwayo mu Efeso okutuusa ku Pentekoote;
9 kubanga oluggi olunene era olw'emirimu emingi lunziguliddwawo, era abalabe bangi.
10 Naye oba nga Timoseewo alijja, mulabe abeerenga gye muli awatali kutya; kubanga akola omulimu gwa Mukama waffe era nga nze:
11 kale omuntu yenna tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, ajje gye ndi: kubanga nsuubira okumulaba awamu n'ab'oluganda.
12 Naye ebya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga.
13 Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi.
14 Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala.
15 Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumanyi ennyumba ya Suteefana, nga gwe mwaka omubereberye ogw'omu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu),
16 nammwe muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu akolera awamu naffe afuba.
17 Era nsanyukira okujja kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyabula ku lwammwe baabituukiriza.
18 Kubanga baawummuza omwoyo gwange n'ogwammwe: kale mukkirizenga abali ng'abo.
19 Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe; n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe.
20 Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.
21 Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange.
22 Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja.
23 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
24 Okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristo Yesu. Amiina.