Chapter 9
1 Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka n'ebyo byonna Sulemaani bye yayagala bye yasiima okukola,
2 awo Mukama n'alabikira Sulemaani omulundi ogw'okubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni.
3 Awo Mukama n'amugamba nti Mpulidde okusaba kwo n'okwegayirira kwo kw'osabidde mu maaso gange; ntukuzizza ennyumba eno gy'ozimbye okuteeka omwo erinnya lyange emirembe gyonna; n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeerangayo obutayosangawo.
4 Naawe bw'onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga n'omutima ogw'amazima n'obugolokofu okukolanga nga byonna bwe biri bye nnaakulagira, era bw'onookwatanga amateeka gange n'emisango gyange;
5 awo naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo ku Isiraeri emirembe gyonna; nga bwe nnasuubiza Dawudi kitaawo nga njogera nti Tewaakubulenga musajja wa kutuula ku ntebe ya Isiraeri.
6 Naye bwe munaakyukanga obutangoberera nze, mmwe oba baana bammwe, ne mutakwata biragiro byange n'amateeka gange bye nnateeka mu maaso gammwe, naye ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza;
7 kale ndimalawo Isiraeri mu nsi gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigiggyawo mu maaso gange; kale Isiraeri aliba lugero na kigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna;
8 era ennyumba eno newakubadde nga mpanvu bw'eti, naye buli anaagiyitangako aneewuunyanga n'asooza; era balyogera nti Mukama kiki ekimukozezza ensi eno bwe kityo n'ennyumba eno?
9 Awo baliddamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda waabwe eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza; Mukama kyavudde abaleetako obubi buno bwonna.
10 Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo, Sulemaani mwe yazimbira ennyumba zombi, ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka,
11 (era Kiramu kabaka w'e Ttuulo yali amulabidde Sulemaani emivule n'emiberosi n'ezaabu nga byonna bwe byali bye yayagala,) awo kabaka Sulemaani n'awa Kiramu ebibuga amakumi abiri mu nsi y'e Ggaliraaya.
12 Awo Kiramu n'afuluma mu Ttuulo okulambula ebibuga Sulemaani by'amuwadde: n'atabisiima.
13 N'ayogera nti Bibuga ki bino by'ompadde, muganda wange? N'abiyita ensi Kabuli ne leero.
14 Awo Kiramu n'aweereza kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri.
15 Era eno ye nsonga y'okusolooza kabaka Sulemaani kwe yasolooza; okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ne Miiro ne bbugwe wa Yerusaalemi ne Kazoli ne Megiddo ne Gezeri.
16 Falaawo kabaka w'e Misiri yali atabadde n'amenya Gezeri n'akyokya omuliro n'atta Abakanani abatuula mu kibuga n'akiwa muwala we muka Sulemaani okuba omugabo.
17 Sulemaani n'azimba Gezeri ne Besukolooni ekya wansi
18 ne Baalasi ne Tamali mu ddungu, mu nsi,
19 n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina n'ebibuga eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embalaasi n'ebyo Sulemaani bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi olw'okwesanyusa ne ku Lebanooni ne mu nsi yonna gye yatwala.
20 Abantu bonna abaali basigadde ku b'Amoli n'Abakiiti n'Abaperizi n'Abakiivi n'Abayebusi abatali ba ku baana ba Isiraeri;
21 abaana baabwe abaasigala oluvannyuma lwabwe mu nsi abaana ba Isiraeri be bataayinza kuzikiririza ddala, abo Sulemaani be yasoloozaako abaddu ne leero.
22 Naye Sulemaani teyafuula baddu ku baana ba Isiraeri; naye baabanga basajja balwanyi n'abaweereza be n'abakulu be n'abaami be era abaafuganga amagaali ge n'abasajja be abeebagalanga embalaasi.
23 Abo be baali abaami abakulu abaalabirira omulimu gwa Sulemaani, ebikumi bitaano mu ataano abaafuganga abantu abaakola omulimu.
24 Naye muwala wa Falaawo n'ava mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka n'ajja mu nnyumba ye Sulemaani gye yali amuzimbidde: awo n'azimba Miiro.
25 Era Sulemaani n'awangayo emirundi esatu buli mwaka ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, ng'ayotereza obubaane wamu ku kyoto ekyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamala ennyumba.
26 Awo kabaka Sulemaani n'asibira empingu eya malikebu e Eziyonigeba ekiriraanye e Erosi ku ttale ly'Ennyanja Emmyufu mu nsi ey'e Edomu.
27 Kiramu n'aweerereza mu mpingu abaddu be abalunnyanja abamanyi ennyanja, wamu n'abaddu ba Sulemaani.
28 Ne bajja e Ofiri ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu abiri ne bagireeta eri kabaka Sulemaani.