Chapter 2
1 Awo ennaku za Dawudi ne ziba nga zinaatera okutuuka afe; n'akuutira Sulemaani mutabani we ng'ayogera nti
2 Nze ŋŋenda bonna ab'omu nsi gye bagenda: kale beera n’amaanyi weerage obusajja;
3 era okwatanga Mukama Katonda wo bye yakukuutira, okutambuliranga mu makubo ge; okukwatanga amateeka ge, n'ebiragiro bye, n'ebyo bye yategeeza, ng'ebyo bwe biri ebyawandiiltibwa mu mateeka ga Musa, olyoke olabenga omukisa mu byonna by'okola, na buli gy'onookyukiranga:
4 Mukama anyweze ekigambo kye kye yayogera ku nze nti Abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu maaso gange mu mazima n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna, tewaakubulenga (bw'atyo bwe yayogera) omusajja ku ntebe ya Isiraeri.
5 Nate omanyi n'ekyo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, kye yakola abakulu ababiri ab'eggye lya Isiraeri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri, be yatta n'ayiwa omusaayi ogw'omu ntalo mu mirembe, n'asiiga omusaayi ogw'omu ntalo ku lukoba lwe lwe yali yeesibye mu kiwato ne mu ngatto ze ezaali mu bigere bye.
6 Kale mukole ng'amagezi go bwe gali, so toganyanga mutwe gwe oguliko envi kukka emagombe mirembe.
7 Naye okolanga bulungi batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi, era babenga ku abo abanaalyanga ku mmeeza yo: kubanga bajja gye ndi bwe batyo bwe nnadduka Abusaalomu muganda wo.
8 Era, laba, waliwo naawe Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow'e Bakulimu, eyankolimira ekikolimo ekizibu ku lunaku kwe nnagendera e Makanayimu: naye n'aserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mmulayirira Mukama nga njogera nti Sijja kukutta na kitala.
9 Kale nno tomuyitanga ataliiko musango, kubanga oli musajja wa magezi; era olimanya ebikugwanira okumukola, n'omutwe gwe oguliko envi oligussa emagombe n'omusaayi.
10 Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi.
11 N'ennaku Dawudi ze yafugira Isiraeri zaali emyaka amakumi ana: yafugira emyaka musanvu e Kebbulooni, n'afugira emyaka amakumi asatu mu esatu e Yerusaalemi.
12 Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ya Dawudi kitaawe; obwakabaka bwe ne bunywezebwa nnyo.
13 Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi n'ajja eri Basuseba nnyina Sulemaani. N'ayogera nti Ojja mirembe? N'ayogera nti Mirembe.
14 Nate n'ayogera nti Ndiko kye njagala okukubuulira: N'ayogera nti Mbuulira.
15 N'ayogera nti Omanyi ng'obwakabaka bwali bwange, Isiraeri yenna ne bakaliriza amaaso gaabwe ku nze nze mbulye: naye obwakabaka bukyuse ne bufuuka bwa muganda wange: kubanga bwali bubwe okuva eri Mukama.
16 Kale nno nkusaba ekigambo kimu, tonnyima. N'amugamba nti Yogera.
17 N'ayogera nti Nkwegayiridde; gamba Sulemaani kabaka, (kubanga taakumme,) ampe Abisaagi Omusunammu mmufumbirwe.
18 Awo Basuseba n'ayogera nti Kale; naakwogererayo eri kabaka.
19 Basuseba kyeyava agenda eri kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya. Kabaka n'agolokoka okumusisinkana, n'amuvuunamira, n'atuula ku ntebe ye, n'ateesesaawo nnyina entebe; n'atuula ku mukono gwe ogwa ddyo.
20 Awo n'ayogera nti Nkusaba ekigambo kimu ekitono; tonnyima. Kabaka n'amugamba nti Saba, mmange; kubanga siikumme.
21 N'ayogera nti Abisaagi Omusunammu aweebwe Adoniya muganda wo okumufumbirwa.
22 Kabaka Sulemaani n'addamu n'agamba nnyina nti Era kiki ekikusabya Abisaagi Omusunammu olwa Adoniya? musabire n'obwakabaka; kubanga ye muganda wange omukulu; sabira ye ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya.
23 Awo kabaka Sulemaani n'alayira Mukama nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga Adoniya tayogedde kigambo ekyo kya kumussa.
24 Kale nno nga Mukama bw'ali omulamu, annywezezza n'antuuza ku ntebe ya Dawudi kitange, era ampadde ennyumba, nga bwe yasuubiza, mazima Adoniya anattibwa leero.
25 Awo kabaka Sulemaani n'atuma mu mukono gwa Benaya mutabani wa Yekoyaada; n'amugwako n'okufa n'afa.
26 Kabaka n'agamba Abiyasaali kabona nti Genda e Anasosi mu byalo byo ggwe; kubanga osaanidde okufa: naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama Katonda mu maaso ga Dawudi kitange, era kubanga wabonyaabonyezebwa mu byonna ebyabonyabonya kitange.
27 Awo Sulemaani n'agoba Abiyasaali obutaba kabona eri Mukama; atuukirize ekigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Eri mu Siiro.
28 Ebigambo ebyo ne bituuka eri Yowaabu: kubanga Yowaabu yali akyuse okugoberera Adoniya, newakubadde nga teyagoberera Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, n'akwata ku mayembe g'ekyoto.
29 Ne babuulira kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era laba, ali ku kyoto. Awo Sulemaani n'atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada ng'ayogera nti Genda omugweko.
30 Benaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'amugamba nti Kabaka bw'ayogera bw'ati nti Fuluma. N'ayogera nti Nedda; naye naafiira wano. Benaya n'addiza kabaka ebigambo ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogedde Yowaabu, era bw'anzizeemu bw'atyo.
31 Awo kabaka n'amugamba nti Kola nga bw'ayogedde, omugweko omuziike; oggyewo omusaayi, Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga, ku nze ne ku nnyumba ya kitange.
32 Era Mukama alizza omusaayi gwe ku mutwe gwe ye, kubanga yagwa ku basajja babiri abaamusinga obutuukirivu n'obulungi, n'abatta n'ekitala, kitange Dawudi n'atakimanya, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Isiraeri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w'eggye lya Yuda.
33 Bwe gutyo omusaayi gwabwe gulidda ku mutwe gwa Yowaabu ne ku mutwe gw'ezzadde lye ennaku zonna: naye eri Dawudi n'eri ezzadde lye n'eri ennyumba ye n'eri entebe ye, eribaayo emirembe ennaku zonna okuva eri Mukama.
34 Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n'ayambuka n'amugwako n'amutta; ne bamuziika mu nnyumba ye ye mu ddungu.
35 Awo kabaka n'assaawo Benaya mutabani wa Yekoyaada okuba omukulu w'eggye mu kifo kye: kabaka n'assaawo Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali.
36 Kabaka n'atuma n'ayita Simeeyi n'amugamba nti Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi, obeere omwo, so tovangayo okugenda yonna yonna.
37 Kubanga ku lunaku kw'oliviirayo n'osomoka akagga Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa: omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.
38 Simeeyi n'agamba kabaka nti Ekigambo ekyo kirungi: nga mukama wange kabaka bw'ayogedde, bw'atyo omuddu wo bw'alikola. Simeeyi n'amala ennaku nnyingi mu Yerusaalemi.
39 Awo olwatuuka emyaka esatu bwe gyaggwaako, abaddu ababiri aba Simeeyi ne badduka ne bajja eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w'e Gaasi. Ne babuulira Simeeyi nti Laba, abaddu bo bali e Gaasi.
40 Simeeyi n'agolokoka n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be: Simeeyi n'agenda n'akima abaddu be e Gaasi.
41 Ne babuulira Sulemaani nga Simeeyi yagenda e Gaasi okuva e Yerusaalemi era ng'akomyewo.
42 Kabaka n'atuma n'ayita Simeeyi n'amugamba nti Saakulayiza Mukama ne nkutegeereza ddala nga njogera nti Tegeerera ddala nga ku lunaku kw'oliviirayo n'otambula okugenda yonna yonna, tolirema kufa? n'oŋŋamba nti Ekigambo kye mpulidde kirungi.
43 Kale kiki ekikulobedde okwekuuma ekirayiro kya Mukama n'ekiragiro kye nnakulagira?
44 Era kabaka n'agamba Simeeyi nti Omanyi obubi bwonna omutima gwo bwe gutegeera, bwe wakola Dawudi kitange: Mukama kyaliva azza obubi bwo ku mutwe gwo ggwe.
45 Naye kabaka Sulemaani aliweebwa omukisa, n'entebe ya Dawudi erinywezebwa mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
46 Awo kabaka n'alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada; n'afuluma n'amugwako n'okufa n'afa. Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.