Chapter 15
1 Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Yerobowaamu kabaka mutabani wa Nebati, Abiyaamu n'atanula okufuga Yuda.
2 Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu.
3 N'atambulira mu bibi byonna ebya kitaawe bye yakola okumusooka: n'omutima gwe tegwatuukirira eri Mukama Katonda we ng'omutima gwa Dawudi kitaawe.
4 Era naye ku lwa Dawudi Mukama Katonda we n'amuwa ettabaaza mu Yerusaalemi okuyimusa mutabani we oluvannyuma lwe n'okunyweza Yerusaalemi:
5 kubanga Dawudi yakolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, n'atakyuka okuva mu kintu kyonna kye yamulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe wabula mu kigambo kya Uliya Omukiiti.
6 Awo waabangawo entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu ennaku zonna ez'obulamu bwe.
7 N'ebikolwa ebirala byonna ebya Abiyaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabanga entalo eri Abiyaamu ne Yerobowaamu.
8 Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye.
9 Awo mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Asa n'atanula okufuga Yuda.
10 N'afugira emyaka ana mu gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu.
11 Asa n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
12 N'agoba abaalyanga ebisiyaga mu nsi, n'aggyawo ebifaananyi byonna bajjajjaabe bye baakola.
13 Era ne Maaka nnyina n'amugoba mu bwa nnamasole kubanga yali akoze ekifaananyi eky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akyokera ku kagga Kiduloni.
14 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: naye omutima gwa Asa gwatuukirira eri Mukama ennaku ze zonna.
15 N'ayingiza mu nnyumba ya Mukama ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu.
16 Ne wabanga entalo eri Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna.
17 Awo Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama, obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda.
18 Awo Asa n'addira effeeza yonna n'ezaabu eyali esigadde mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka n'abikwasa mu mikono gy'abaddu be: kabaka Asa n'abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
19 Waliwo endagaano eri nze naawe, eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ekirabo kya ffeeza n'ezaabu; genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.
20 Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri, n'akuba Iyoni ne Ddaani ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna n'ensi yonna eya Nafutaali.
21 Awo olwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'abeeranga e Tiruza.
22 Awo kabaka Asa n'alangira Yuda yenna; tewali eyaggibwako; ne baggyawo amayinja ag'e Laama, n'emiti gyakyo, Baasa bye yazimbya; kabaka Asa n'abizimbisa Geba ekya Benyamini ne Mizupa.
23 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Asa n'amaanyi ge gonna ne byonna bye yakola n'ebibuga bye yazimba tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Naye mu kiseera eky'obukadde bwe n’alwala ebigere.
24 Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye.
25 Awo Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'atanula okufuga Isiraeri mu mwaka ogw'okubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
26 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kyonoono kye kye yayonoonyesa Isiraeri.
27 Awo Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Isakaali n'amwekobaana; Baasa n'amukubira e Gibbesoni eky'Abafirisuuti; kubanga Nadabu ne Isiraeri yenna baali bazingizizza Gibbesoni.
28 Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mwe yamuttira, n'afuga mu kifo kye.
29 Awo olwatuuka amangu ago bwe yalya obwakabaka, n'atta ennyumba yonna eya Yerobowaamu; teyamulekera Yerobowaamu n'omu eyassa omukka okutuusa lwe yamuzikiriza; ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama kye yayogera n'omukono gw'omuddu we Akiya Omusiiro:
30 olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yayonoona era bye yayonoonyesa Isiraeri; olw'okusunguwaza kwe kwe yasunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri.
31 Era ebikolwa ebirala byoana ebya Nadabu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
32 Ne wabanga entalo eri Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna.
33 Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mutabani wa Akiya n'atanula okufuga Isiraeri yenna e Tiruza, n'afugira emyaka amakumi abiri mu ena.
34 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kwonoona kwe kwe yayonoonyesa Isiraeri.