Chapter 18
1 Awo olwatuuka ennaku nnyingi bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kimujjira Eriya mu mwaka ogw'okusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi.
2 Awo Eriya n'agenda okweraga eri Akabu. Era enjala ng'enyiikidde nnyo mu Samaliya.
3 Awo Akabu n'ayita Obadiya eyali saabakaaki. (Era Obadiya yatya nnyo Mukama:
4 kubanga olwatuuka Yezeberi bwe yamalawo bannabbi ba Mukama, Obadiya n'addira bannabbi kikumi n'abakweka mu mpuku ataano ataano, n'abaliisanga n'emigaati n'amazzi.)
5 Awo Akabu n'agamba Obadiya nti Genda obune ensi eri enzizi zonna ez'amazzi n'eri obugga bwonna: mpozzi tuliraba omuddo netuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa tuleme okufiirwa ensolo zonna.
6 Awo ne bagabana ensi bombi okugibuna: Akabu ng'akwata ekkubo lye ye, ne Obadiya ng'akwata ekkubo lye ye.
7 Awo Obadiya ng'ali mu kkubo, laba, Eriya n'amusanga: n'amumanya n'avuunama amaaso ge n'ayogera nti Ggwe wuuno, mukama wange Eriya?
8 N'amuddamu nti Nze nzuuno: genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya ali wano.
9 N'ayogera nti Nnyonoonye mu ki, n'oyagala okuwaayo omuddu wo mu mukono gwa Akabu okunzita?
10 Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, tewali ggwanga newakubadde obwakabaka mukama wange gy'ataatuma okukunoonya: awo bwe baayogeranga nti Tali wano, n'alayiza obwakabaka obwo n'eggwanga nga tebakulabye.
11 Kale kaakano oyogedde nti Genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya ali wano.
12 Kale olulituuka nga kyenjije nkuveeko kale omwoyo gwa Mukama gunaakutwala gye simanyi; kale bwe ndituuka ne mbuulira Akabu n'atayinza kukulaba, alinzita: naye nze omuddu wo ntya Mukama okuva mu buto bwange.
13 Tekibuulirwanga mukama wange kye nnakola, Yezeberi bwe yatta banaabbi ba Mukama, bwe nnakweka abasajja kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku ataano ataano, ne mbaliisa emigaati n’amazzi?
14 Kale kaakano oyogedde nti Genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya aliwano: kale ananzita.
15 Awo Eriya n'ayogera nti Nga Mukama ow'eggye bw'ali omulamu, gwe nnyimiririra mu maaso ge, siireme kweraga eri ye leero.
16 Awo Obadiya n'agenda okusisinkana Akabu n'amubuulira: Akabu n'agenda okusisinkana Eriya.
17 Awo olwatuuka Akabu bwe yalaba Eriya Akabu n'amugamba nti Ggwe wuuno, ggwe ateganya Isiraeri?
18 N'addamu nti Nze sinnateganya Isiraeri; naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, n'ogoberera Babaali.
19 Kale nno tuma okuŋŋaanyize gye ndi Isiraeri yenna ku lusozi Kalumeeri ne bannabbi ba Baali ebikumi bina mu ataano ne bannabbi ba Baaseri ebikumi bina abalya ku mmeeza ya Yezeberi.
20 Awo Akabu n'atumira abaana ba Isiraeri bonna n'akuŋŋaanyiza bannabbi ku lusozi Kalumeeri.
21 Awo Eriya n'asemberera abantu bonna, n’ayogera nti Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye. Abantu ne batamuddamu kigambo.
22 Awo Eriya n'agamba abantu nti Nze nzekka nze nsigaddewo nnabbi wa Mukama; naye bannabbi ba Baali abasajja ebikumi bina mu ataano.
23 Kale batuwe ente bbiri; beeroboze eate emu okuba eyaabwe, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, so tebateeka muliro wansi: nange naalongoosa ente ey'okubiri, ne ngiteeka ku nku, ne siteeka muliro wansi.
24 Kale mmwe mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, nange naakaabirira erinnya lya Mukama: kale Katonda anaddamu n'omuliro oyo abe Katonda. Awo abantu ne baddamu ne boogera nti Oyogedde bulungi.
25 Awo Eriya n'agamba bannabbi ba Baali nti Mweroboze ente emu okuba eyammwe, musooke okugirongoosa; kubanga muli bangi; mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, naye temuteeka muliro wansi.
26 Ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagirongoosa, ne bakaabirira erinnya lya Baali okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ai Baali, tuwulire. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu. Ne babuuka awali ekyoto ekyakolebwa.
27 Awo olwatuuka mu ttuntu Eriya n'abaduulira n'ayogera nti Mwogerere waggulu: kubanga katonda; oba afumiitiriza oba akyamye oba ali mu lugendo oba mpozzi yeebase, kigwanidde okumuzuukusa.
28 Ne boogerera waggulu ne beesala n'obwambe n'amafumu ng'engeri yaabwe bwe yali okutuusa omusaayi lwe gwakulukutira ku bo.
29 Awo olwatuuka ettuntu bwe lyali limenyese, ne balagula okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi; naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu newakubadde assaayo omwoyo.
30 Awo Eriya n'agamba abantu bonna nti Munsemberere; abantu bonna ne bamusemberera. N'addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa.
31 Awo Eriya n'addira amayinja kkumi n'abiri ng'omuwendo bwe guli ogw'ebika by'abaana ba Yakobo eyajjirwa ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.
32 N'azimba amayinja okuba ekyoto mu linnya lya Mukama, n'asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, obunene bwa lwo olugyamu ebigero bibiri eby'ensigo.
33 N'atindikira enku, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku. N'ayogera nti mujjuze amapipa ana amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa ne ku nku.
34 Awo n'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogw'okubiri; ne bakola bwe batyo omulundi ogw'okubiri. N'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogw'okusatu; ne bakola bwe batyo omulundi ogw'okusatu.
35 Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto; n'ajjuza n'olusalosalo amazzi.
36 Awo olwatuuka mu kiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi Eriya nnabbi n'asembera n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo.
37 Mpulira, ai Mukama, mpulira, abantu bano bamanye nga ggwe, Mukama, ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okuddayo.
38 Awo omuliro gwa Mukama ne gugwa ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'enku n'amayinja n'enfuufu, ne gukombera ddala amazzi agaali mu lusalosalo.
39 Awo abantu bonna bwe baakiraba ne bavuunama amaaso gaabwe: ne boogera nti Mukama ye Katonda; Mukama ye Katonda.
40 Awo Eriya n'abagamba nti Mukwate bannabbi ba Baali: waleme okuwona n'omu. Ne babakwata: Eriya n'abaserengesa eri akagga Kisoni n'abattira eyo.
41 Awo Eriya n'agamba Akabu nti Golokoka olye onywe; kubanga waliwo okuwuuma kw'enkuba nnyingi.
42 Awo Akabu n’agolokoka okulya n'okunywa. Eriya n'alinnya ku ntikko y'e Kalumeeri; n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge.
43 N'agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N'alinnya n'alengera n'ayogera nti Tewali kintu. N'ayogera nti Genda nate emirundi musanvu.
44 Awo olwatuuka omulundi ogw'omusanvu, n'ayogera nti Laba, ekire kirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng'omukono gw'omuntu obutono. N'ayogera nti Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza.
45 Awo olwatuuka ekiseera kitono bwe kyayitawo, eggulu ne libindabinda ebire n'embuyaga, ne waba enkuba nnyingi. Akabu n'alinnya mu ggaali n'agenda e Yezuleeri.
46 Omukono gwa Mukama ne guba ku Eriya; ne yeesiba ekimyu n'addukira mu maaso ga Akabu okutuusa awayingirirwa e Yezuleeri.